
Barbie Kyagulanyi ng'ayogerako eri abantu e Masaka.
Bannakibiina kya National Unity Platform bayingidde olunaku olwokusatu nga basula mu kkomera wadde nga kkooti e Masaka yakkiriza okubeeyimirira era ne bateebwa.
Olunaku olwaleero bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Majellane Kazibwe basiibye beetala nga balowooza nti abasibe baabwe banaayimbulwa naye tekisobose oluvannyuma lw'abakulira ekkomera ku ssaza gye bali okubategeeza nti emmotoka ebadde erina okubatambuza okubazza ku kkooti ate yafunyemu obuzibu.
Kazibwe ategeezezza nga bwe babalagidde okuddamu okufuna ebbaluwa ekkiriza okuteebwa kwa basibe bano kye bakoze nga baakugitwala ku kkomera olunaku olw'enkya.
Ne mukyala wa Robert Kyagulanyi Ssentamu, Barbie Itungo abitaddemu engatto nagenda e Masaka okulaba ekigenda mu maaso. Ono agumizza abantu okubeera abakkakkamu nga bwe balinda ekinaava mu kkomera.
Agambye nti akimanyi bazadde ba basibe balina obulumi naye ekyetaagisa kwekusaba n'okuba abakkakkamu balinde ekiddako.