
Pr. Ssembuusi ng’asomesa abakadde okuva mu kitundu ky’atwala.
Abakulembeze mu kkanisa y'Abadiventi mu kitundu ekitwala disitulikiti okuli: Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma basabye abakulira ebyokwerinda n'abakulu mu gavumenti okwegendereza ebigambo bye boogera n'engeri gye bang'angamu abavuganya gavumenti obutalabika ng'ate abakuma omuliro mu bantu.

Bano baabadde baanukula ebigambo by'omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola bwe yategeezezza nga poliisi bw'etayinza kuvaayo kw'etondera b'amawulire ku bikolwa eby'ekko n'ettima ebizze bibatuusibwako mu kiseera kino eky'okunoonya obululu.

Bano baakuliddwamu omusumba atwala ekitundu kya East Buganda, Joseph Ssembuusi, akulira obusumba bw'e Mukono Noah Ssekitto n'akulira abakadde b'ekkanisa Apollo Mubiru. Abakulembeze bano baabadde mu musomo gw'abakadde b'ekkanisa mu kibuga ky'e Mukono ku Lwomukaaga.
Mubiru yagambye nti kikyamu omukulembeze ali ku ddaala lya IGP okuvaayo n'ayogera ebigambo ebyayogeddwa Ochola eri ab'amawulire ng'ate ebitongole ebibiri eky'amawulire ne poliisi birina kukolera wamu.
Okuva okunoonya obululu lwe kwatandika, emyezi ng'ebiri egiyise, ab'amawulire abawerako bazze batulugunyizibwa poliisi mu ngeri ez'enjawulo omuli abakubiddwa emiggo, ttiya ggaasi n'amasasi.
Ashraf Kasirye eyali akwata amawulire g'ekibiina kya NUP, ekya Robert Kyagulanyi Ssentamu bwe yali e Masaka n'akubwa essasi ye yasinga okukosebwa nga n'okutuusa kati akyali mu ddwaaliro e Lubaga.