TOP

Musse ekitiibwa mu biraamo - Kiganda

Added 10th January 2021

Paasita Kiganda ng'asabira omusika Nandawula.

Paasita Kiganda ng'asabira omusika Nandawula.

OMUSUMBA David Kiganda ow'ekkanisa ya Christianity Focus Centre mu Kisenyi asabye abantu okussa ekitiibwa mu biraamo by'abafu.

Abamu ku baana nga boogera ku nnyina.

Bino abyogeredde ku kyalo Mugongo mu Kyengera Town Council mu kuziika Damallie Wannyana Kironde Ssematimba 72 abadde omugoberezi we.

Omugenzi Damallie Wannyana Ssematimba.

Kiganda nga tannatandika kusaba asoose kusomera bakungubazi ekiraamo ky'omugenzi kye yawandiika nga January 29, 2018 mwe yategeereza nti emikolo egy'okumuziika girina okukolebwako aba kkanisa ya Kiganda era bwe bamala okumuziika balage abakungubazi omusika we Connie Nandawula.

Nga baziika omugenzi Damallie Ssematimba.

Kiganda awadde abazadde  amagezi okuweerera abaana baabwe kubanga kye ky'obugagga ekitaggwawo kye basobola okubalekera okusinga ebintu ebikalu.

Oluvannyuma asabidde omusika Connie Nandawula era namwatuza obulokozi n'oluvannyuma n'amukwasa Bayibuli ng'ekyokulwanyisa era namukalaatira okwagala abantu ng'omugenzi bw'abadde.

Abaana nga boogeera ku nnyabwe.

Damallie yafudde bulwadde bwa Covid-19 era aziikiddwa nga bagoberera ebiragiro bya minisitule y'eby'obulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...