
Tinkamarirwe ng’ali n’abaaweereddwa ppikippiki.
OMUMYUKA wa RDC e Mubende ne Kassanda, Evelyn Kizza Tinkamarirwe alabudde nga bw'agenda okuggalira abeetegese okukola effujjo mu kulonda okutandika ku Lwokuna.
Tinkamarirwe okwogera bino yasinzidde mu disitulikiti y'e Kassanda gye yakwasirizza bassentebe b'amagombolola aba NRM ppikippiki ezigenda okunoonyeza ekibiina obululu mu bbanga erisigaddeyo. Yabakwasizza ppikippiki mwenda n'abasaba okuzikozesa obulungi.
Yawadde ab'e Mubende ne Kassanda amagezi okukeera okulonda kyokka buli amaliriza okusuula akalulu adde awaka alindirire ebinaava mu kulonda. Yasabye ne bannannyini bbaala obutetantala kuziggula nti beekulisa.
Akulira NRM e Kassanda, Haji Siraje Ssendawula yagambye nti NRM erindiridde obuwanguzi. Isaac Kamulegeya avuganya ku ky'omubaka owa Kassanda North yasabye abalonzi okutunuulira obusobozi nga balonda.