
Nakyazze maama w’omwana eyabbiddwa.
OMUKAZI gwe babbyeeko omwana ng'ava mu ttakisi asobeddwa, poliisi bw'emukutte agiyambeko mu kubuuliriza. Halima Nakyazze 20, ow'e Kazo ye yakwatiddwa poliisi y'oku Kaleerwe oluvannyuma lw'omwana we Phabiorah Kalungi ow'omwaka ogumu okumumubbako ng'ava mu ttakisi eyamuggye mu kyalo gye yagenda okuliira Ssekukkulu.

Nakyazze yagenze ku poliisi ne bba Bernard Kalungi 24, omuvuzi wa ttakisi e Mpereerwe ne baggulawo omusango ku ffayiro nnamba SD:17/08/01/2021 ogw'okubbibwa kw'omwana waabwe. Poliisi yabalagidde bombi okukola sitetimenti nga bannyonnyola ebyabaddewo. Kuno kwe baasinzidde okukwata Nakyazze nga baagala abayambe mu kunoonyereza kwabwe.
Nakyazze yagambye nti yali agenze mu kyalo e Kayunga - Kangulumira mu nnaku enkulu omwana n'alwala n'amutwala mu ddwaaliro e Jinja gye yava okulinnya ttakisi ezidda e Kampala. Agamba nti baali n'omukazi era bwe yatuuka ku Kaleerwe n'amukwasa omwana n'ensawo agende yeetaawuluzeeko kyokka yagenda okudda ng'omukazi adduse n'omwana.
Miriam Ato, akulira bambega ku poliisi y'oku Kaleerwe yagambye nti okusinziira ku sitetimenti ya Nakyazze kwe baasinzidde okumusigaza abayambe mu kunoonyereza.