
Omulangira Nakibinge (ku kkono) ne Supreme Mufuti mu Dduwa.
OMULANGIRA Kassim Nakibinge ayingidde mu nsonga za bannamwandu ba Sheikh Nuhu Muzaata Batte abaagenze mu kkooti okugabana ebyobugagga by'omugenzi. Bino Nakibinge yabitegeezezza ggulo abaabadde mu Dduwa ya Muzaata e Kigoogwa gye yaziikibwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti ye Wakiso.

Edduwa yeetabiddwaako Supreme Mufti Haji Siliman Kasule Ndirangwa, bannabyabufuzi okwabadde Loodi Mmeeya Erias Lukwago n'abantu abalala. Bannamwandu okuli Amina Bugirita Muzaata gwe yasooka okuwasa wabula ne baawukana ne Kuluthum Muzaata baabaddeyo. Kuno kwossa abamu ku baana okuli Hadijah Nabakembo, Annuali Muzaata Ssessanga ne Shafi c Muzaata.
Okusaala kwakulembeddwa Supreme Mufti Ndirangwa eyazzeemu okwoza ku mmunye mu kusabira Muzaata nga bwe yakola e Kibuli mu kumusaalira. Mu bubaka bwe, yazzeemu okulaga engeri Muzaata gye yalwanirira ennyo Obusiraamu era ne yeebaza Omulangira Nakibinge olw'okubagumya.

KKOOTI TEGENDA KUGONJOOLA NSONGA ZA MUZAATA - NAKIBINGE: Omulangira Nakibinge yasoose kwebaza abantu bonna abazze n'abaateeseteese Dduwa eno kyokka ne yennyamira olwa bannamwandu abakaayanira ebyobugagga bya Muzaata ne batuuka n'okugenda mu kkooti. Yategeezezza nti kkooti tegenda kusala musango guno, wabula okutundanga ettaka lya Muzaata nga buli balooya bwe baba baagala ssente.
Yategeezezza abaagenze mu kkooti nti Muzaata yalaama ebintu bye bigabibwe mu nkola ya Sharia era kino kye kyagobererwa. Yagambye nti agenda kubanoonya basooke batuule mu nsonga zino kwe kubasaba babeere bakkakkamu.
‘GAVUMENTI MULEKE KUTEEKA BANTU KU BUNKENKE' Omulangira Nakibinge yasabye gavumenti ereme kuteeka bantu ku bunkenke olw'ebyokulonda eby'olunaku olumu. Yasabye akakiiko k'ebyokulonda okubeera akeerufu, akalulu kakubwe mu mirembe.