TOP

Engeri amagye gye gaakutte owa Bobi Wine

AMAGYE gakutte musajja wa Bobi Wine omulala ne gamubuzaawo ng'ebula ssaawa okutuuka ku kulonda kw'ababaka ba Palamenti ne Pulezidenti.

Selector Davie eyaakwatiddwa abamagye. Abadde omu ku batambula ne Kyagulanyi ng’anoonya akalulu.

Selector Davie eyaakwatiddwa abamagye. Abadde omu ku batambula ne Kyagulanyi ng’anoonya akalulu.

Bya JOSEPH MAKUMB, LAWRENCE KITATTA, TONNY KALYANGO NE GODFREY SSEMPIJJA

AMAGYE gakutte musajja wa Bobi Wine omulala ne gamubuzaawo ng'ebula ssaawa okutuuka ku kulonda kw'ababaka ba Palamenti ne Pulezidenti.

David Lule Bwanika (Selector Davie) omu ku bayambi ba Bobi Wine yakwatiddwa ku Lwokubiri ku makya okuva mu maka ge e Magere ku luguudo lw'e Gayaza. Tebaakomye ku Selector Davie, Bobi Wine yabadde akyali ku yintaviyu ne leediyo emu ey'e Kenya, abajaasi ne bayingira mu maka ge ne bakwata abakozi be babiri ne bakuba n'abakuumi.

Kyagulanyi yagambye nti, abajaasi baasazeeko amaka ge ne bakwata abakuumi be na buli muntu yenna gwe baabadde bakubako amaaso. Bobi Wine alumiriza nti abajaasi era baakubye ne ddereeva we gwe yayogeddeko erya Kateregga amasasi ne gamuyisa bubi n'atwalibwa mu ddwaaliro gye yafiiridde oluvannyuma.

Selector Davie y'omu ku babadde batambulira ku lusegere lwa Kyagulanyi ng'anoonya akalulu era kigambibwa nti, y'omu ku be baali beetaaga okukwata e Kalangala n'abatolokako. Mu 2017 mu lutalo lwa Togikwatako, abaserikale bwe baataayiza Kyagulanyi ku Garden City aleme okutuuka ku Palamenti, Selector Davie yalemesa abaserikale okumukwata n'abuukira bodaboda eyamutuusa ku Palamenti.

Bwanika ye yali atabula emiziki gya Bobi Wine mu bivvulu okumala emyaka egiwera. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, tebalina muntu yenna gwe baakutte wa Kyagulanyi.

Yategeezezza nti, baggyeeyo misanvu gyabadde mu kkubo eridda ewuwe n'agattako nti, ‘bw'aba alina obukakafu nti waliwo abantu abaakwatiddwa abubalage.'

15 ABAABUZIDDWAAWO E KYOTERA BONGEDDE OBUNKENKE Abooludda oluvuganya Gavumenti abeesimbyewo e Kyotera balumiriza nti, bannaabwe babuzibwawo lwa butawagira beesimbyewo ku kkaadi ya NRM. Wiiki ewedde, kigambibwa nti, abantu abateeberezebwa okubeera abeebyokwerinda baabuzizzaawo abantu 15 okuva ku byalo bibiri Mitondo ne Ssunga.

Bano baagattiddwa ku bataano okuli ne ssentebe w'ekyalo, Gabriel Kagimu abaasooka okukwatibwa nga January 1, 2021 okuva ku kyalo Lusaka mu ggombolola y'e Lwankoni ne baggalirwa ku poliisi y'e Kalisizo.

Joseph Kamya omu ku baakwatiddwa ku Lusooka omwaka wabula oluvannyuma n'ayimbulwa yategeezezza nti abaserikale baabalumba ku ssaawa nga 2:00 ez'ekiro ne babakwata nga bwe babakuba nga babalumiriza obutawagira NRM naddala ku kifo ky'omubaka wa palamenti era baabatutte ne babaggalira. Baayimbuddwa ku kakalu ka poliisi nga batulugunyiziddwa.

John Paul Lukwago Mpalanyi akwatidde DP bbendera ku ky'omubaka wa Kyotera yalumirizza ebitongole by'ebyokwerinda okukwatanga abantu baabwe awatali nsonga n'ategeeza nti bino bigendereddwaamu kubatiisatiisa na kubaggya ku mulamwa.

Embiranye ku kifo ky'omubaka wa Kyotera eri wakati wa Minisita Harunah Kyeyune Kasolo owa NRM ne Lukwago owa DP wadde ng'akalulu kalimu abalala okuli, Charles Kirumira owa NUP, Adam Tebajjwa owa JEEMA, Livingstone Ssali ne Seregious Ndalike abatalina bibiina. Eky'omubaka omukazi kivuganyizibwako abantu basatu okuli Fortunate Rose Nantongo owa DP, Racheal Nakitende owa NRM ne Nassolo Aisha owa FDC.

Omwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka yategeezezza nti abalina okwemulugunya ku bantu baabwe ababa bakwatiddwa bagende ku poliisi basobole okumanya ekiba kibakwasizza.

EYAWAMBIBWA E NANSANA BAAMUZUDDE KIREKA: Bernard Kiyingi omuwagizi wa NUP eyabuzibwawo ku Jenina e Nansana emyezi ebiri egiyise, baamuggye Kireka ku Special Investigations Unit (SIU) gye yabadde yaggalirwa ng'abantu be balowooza yattibwa.

Maria Nakiboneka eyeesimbyewo ku kifo kya kkansala okukiikirira omuluka gwa Nansana Division II ku disitulikiti e Wakiso yagambye nti, yamuggye mu kaduukulu nga yenna atulugunyiziddwa, asiiwuuse era ng'awenyera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....