TOP

Eyali minisita Kisamba Mugerwa aziikiddwa

Added 13th January 2021

PULEZIDENTI Museveni atenderezza musajja e, Dr. Wilberforce Kisamba Mugerwa gwe yagambye nti, amwenyumirizaamu olw’okweyambisa amagezi n’obukugu bwe okutandikawo pulojekiti ez’enjawulo ez’omugaso mu gavumenti n’ebitongole bya nnekolera gyange ezikyusizza embeera z’abantu baabulijjo mu ggwanga.

Omugenzi Kisamba Mugerwa

Omugenzi Kisamba Mugerwa
Yanokoddeyo nti, bwe yali minisita w'ebyobulimi n'obulunzi, yafuba okufuula ebyobulimi eky'obusuubuzi era ng'obukugu bwabadde nabwo obw'enjawulo abukozesezza n'asukkuluma mu buli kye yakwatako engalo omuli n'okusitula abantu mu by'enjigiriza, ebyobufuzi n'ebyobusuubuzi.

Museveni era yategeezezza nti Kisamba Mugerwa abadde kya kulabirako mu bukulembeze obulengera ewala bwalaze nti kisoboka omuntu okutuuyana n'atuuka ku birungi nga tayise mu kukumpanya n'okwagala eby'amangu n'asaba abavubuka abaagala eby'amangu okumulabirako.

Bino byabadde mu bubaka bwe obwasomeddwa minisita avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu, Dr. JC Muyingo mu kuziika omugenzi ku kyalo Kikonda mu ggombolola y'e Bamunaanika mu Luweero.

Ssaabalabirizi Steven Kazimba Mugalu yategeezezza nti omugenzi Kisamba agasizza ekitundu gy'ava, ekkanisa n'eggwanga n'asaba abayivu n'abalina ensimbi okumulabirako baleme kwegasa bokka.

Omulabirizi wa Luweero, Eridard Kironde Nsubuga yategeezezza nti omugenzi Kisamba Mugerwa abadde mukozi, omuyivu, ayagala Katonda n'azimba amasinzizo ag'enzikiriza ez'enjawulo era atatya kwogera kimuli ku mutima ne kimuyamba obutabeera munnanfuusi.

Omusumba w'essaza lya Kasana Luweero, Paul Semwogerere yasiimye omugenzi olw'obutabba bya bugagga bya ggwanga kwegaggawaza n'okukubiriza abantu okwekolera ng'ayita mu kubajerega ne balowooza nti abaduulira.

COVID 19 MUMWEGENDEREZE

Omugenzi baagambye nti yafudde Covid 19 era omulambo gwe gwatuuse ku ssaawa ya kuziika ne gutwalibwa butereevu ku ntaana wakati mu miranga n'okwaziirana era abakulembeze baasabye abantu okukwata amateeka g'ebyobulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abalondoola enkulaakulana m...

ABAKUNGU mu byenkulakulana ku lukalu lwa Africa balaze omugaso gw'okukuuma obutonde bwensi mu kaweefube w'okuddabulula...

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...