
Hajji Jamir Ssebalu.
EKIBUGA Katwe ffenna tukuze tukimanyi ng'ekibuga ky'Abaddugavu mu Uganda era emirimu ng'obuweesi ffenna tukimanyi nti, we gyabeeranga okuviira ddala mu 1962 nga twakafuna obwetwaze. Bajjajjaffe olw'obuyiiya obwa waggulu obwayolesebwanga e Katwe buli ekyakolebwanga wano nga bakiyita "Magezi g'Abaganda" era enjogera eno wano we yava.
Enkulaakulana ezimbirwa ku buyiiya Ekibuga kino kiri kkiromita 3 okuva e Kampala era kigambibwa nti mu 2007 kyalimu abakozi 3,000 kati we njogerera beeyongedde nnyo. Olw'obuganzi ekibuga kino bwe kirina, baakizannyamu ne ffirimu eyacaaka ennyo e Uganda, ‘The Queen of Katwe'.
Mu kibuga kino gye tusanga amakolero amatono agaweesa ebyuma eby'enjawulo era ne kituwonya okusiyagguka engendo wabweru w'eggwanga nga tubinoonya. Mu butuufu Gavumenti yaffe wano eggyawo omusolo oguwera okuva mu bintu eby'enjawulo.
Kale Katwe kiwaniridde nnyo omuntu wabulijjo mu kumuwa emirimu kubanga abantu beetandikiddewo emirimu egy'enjawulo ne bafuna ekigulira Magala eddiba. Ekirungi ne Gavumenti esikirizza abantu okwetandikirawo mirimu ng'eyita mu pulogulaamu yaayo "Skilling Uganda" awamu ne Makerere University ekwataganye ne Katwe okubaako bye bakola mu kutumbula tekinologiya waffe.
Bw'oba oyogera ku buyiiya, tekinologiya w'Abaddugavu e Katwe mu bintu by'amakolero kizibu nnyo okwerabira omugenzi Musa Body eyali omukalabakalaba e Katwe mu kuweesa. Mu buyiiya buno mwemuli obuuma obukuba emberenge n'ebinyeebwa, ebyuma by'emmwaanyi n'obuwunga, basaanuusa ebyuma ne bakolamu ebintu ng'amaseffuliya aga aluminiyamu n'ebijiiko, obugaali bw'abaana n'ebyokuzannyisa ebyabaana eby'enjawulo.
Ate bwe twetooloolako ku bwamakanika abantu be Katwe bakanisi balungi kubanga balungi nyo mu kukanika ‘mmotta' ez'ebyuma ebinene nga ebyobuwunga, emmwaanyi n'amakolero amalala mangi. So ate mu kukanika emmotoka era wano bakafulu kuba oyinza okulowooza buli kikka kya mmotoka bakisobola olw'obutetenkanya bwabwe.
Mu kukanika firiigi, ttivvi, amagaali, pikippiki n'ebyuma ebisinga balungi nnyo. Ekibuga Katwe era kimanyiddwa mu kutunda ebintu ebikadde okugeza ffiriigi , ttivvi, kkuuka z'amasannyalaze, obugaali bw'abaana, pikippiki, ebifumba amazzi ne kalonda omulala mungi Ebintu ebipya nabyo bisangibwayo kubanga amaduuka gaabyo nago gye gali.
Noolwekyo byonna bye njogeddeko oyinza okubifuna mu bupya bwabyo okugeza kalonda yenna ow'omunnyumba omusangayo. Bw'otuuka mu kibuga ky'Abaddugavu kiri gy'oli okwerowooza ku ky'onoogula mu bikadde oba mu bipya.
Ekibuga kino kikyuse nnyo kubanga kati ebizimbe ebya kalina bingi bizimbiddwaamu era ne mu nzigotta nayo kati awasinga bazimbyeyo amaduuka aga kalina agalabika obulungi. Edda abayaaye balinga bangi nnyo e Katwe naye kati si bweguli.
Kati e Katwe tulabayo, amasundiro g'amafuta, Muganzirwazza, n'amakampuni mangi ge soogeddeeko. Enzigotta ekyaliyo era omuntu wa wansi akyaliyo kubanga abeera asula kumpi n'ekibuga era kiba kimwanguyira okutambulawo okutuuka mu kibuga mu bwangu. Obulamu bwa bantu abasula e Katwe bubanguyira kubanga ebintu ebisinga bya layisi.