TOP

Sserunjogi kkampeyini azikozeemu ssente

Added 13th January 2021

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano eri abo abamanyi okukola bizinensi ezeekuusa ku byobufuzi.

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Bya BENJAMIN SSEMWANGA                                                                                                                                AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano eri abo abamanyi okukola bizinensi ezeekuusa ku byobufuzi.

Sserunjogi ng'alaga emijoozi egiteekeddwaako ebigambo.

Charles Sserunjogi akolera ku Nasser Road mu Kampala akola ebintu eby'enjawulo ebikozesebwa bannabyabufuzi mu kuwenja akalulu wuuno annyonnyodde engeri kkampeyini zino ezaakaggwa bw'azikozeemu ssente empya n'enkadde.

ENTANDIKWA                                                                                                                                                            Oluvannyuma lw'okusoma ku yunivasite ne mmaliriza mu 2005 nanoonya ebyokukola ne bibula era okukola ebintu ebikozesebwa mu biseera by'obululu nabiyigira ku mukwano gwange eyantwala okukola naye ku Nasser nga batuwaayo ku kasente akatono.

Mu mbeera eno natandika okutereka ku kasente ke baatuwanga, nga ku 10,000/- ze nafunanga nterekako 5,000/- buli lunaku. Kino kyansobozesa okukuhhaanya 1,000, 000/- oluvanyuma lw'omwaka gumu n'ekitundu ne ngula kompyuta eyasooka nga nkadde naye nga ngikozesa ebintu eby'enjawulo. Ebyuma ebirala nga mbyewola ku bannange okusobola okufulumya emirimu.

ENFUNA                                                                                                                                                                      Okutonaatona ebikozesebwa naddala mu biseera by'obululu wamu n'okwokesaamu ebintu eby'enjawulo nga kw'otadde okukola ebipande nkifunyeemu era sitoma. Okuva ku 10,000/- ze bampanga mwe nakola kkampuni mwendi ne bannange bataano ng'ebalirirwamu 100,000,000/-.

Okufuna emirimkkampuni ez'enjawulo omuli okumpa emirimu egitandikira mu 500,000/- ekitono era kino kyansobozesa okugula ekyuma eky'omulembe ekyokesaamu ebipande eby'omulembe ki Zerox Digital ku 4,500,000/- ne nfunayo ne bannange ne tugenda nga tukola era ne tugaziya omulimu gwaffe.

BY'AFUNYE                                                                                                                                                                  Nsobodde okugula emmotoka ey'omulembe mu mulimu guno kw'oteeka n'etambuza emirimu gya kkampuni. Nzimbyeko ennyumba kw'otadde n'okuteekawo ez'abapangisa. Omulimu guno gutulabirira wamu n'abantu abalala abawerako mu mbeera y'okwambala, okutuliisa, okutujjanjaba wamu n'okuweerera abaana baffe.

EBIMUYAMBYE OKUFUNA Okubeera n'ekiruubirirwa nga nkola emirimu gyange, okwongera okutondawo n'okugaziya omulimu gwange. Obumalirivu mu kye nkola nga temuli kwesaasira nga nkola okulaba ng'omulimu gwange gugaziwa ekyongera okumpa amaanyi buli lunaku.

Obwesige mu bakasitoma nga nfuba okulaba nti emirimu gy'abantu ababeera bazze gyendi ngikola bulungi ne kireetawo obwesige wakati wange nabo nga kino nakyo kireetedde omulimu gwange okweyongera okukula.

Okukozesa obukugu mu mulimu guno nga nfuba okwewala ensobi ez'enjawulo eziyinza okunzigyako bakasitoma bange nga newali ensobi ekoleddwa tuwuliziganya bulungi ne kasitoma olw'enkolagana ennungi ebeerawo mu makkati gaffe.

EBIRUUBIRIRWA: Okugaziya kkampuni efune amatabi mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo . Okuwa abantu abasoba mu 1000 emiriimu nabo babeere nga basobola okuganyulwa mu mulimu guno okuva ku bantu abataano kati be tukozesa.

EBISOOMOOZA: Bakayungirizi ababeera baleeta emirimu ng'abamu bayaaye ate ng'emirimu tebagikola bulungi nga bafa kimu kusobola kukola ssente Abantu abangi okweyongera okwettanira omulimu guno gwe tukola ate kiretedde okweyongera okukola emirimu ku ssente entono nga si gye zisaana wamu n'okuvuganya okutali kulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zlatan ne Lukaku balwanye

KATEMBA yabadde mu mupiira gwa AC Milan ne Inter Milan ku Lwokubiri, Zlatan Ibrahimovic ne Romelu Lukaku bwe baacankalanye...

Katikkiro Mayiga ng’atongoza ekitabo OMUGANDA KIKA. Akutte ekitabo ye Kyewalabye Male.

Katikkiro akunze Abaganda o...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubiriza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

Anite (ku ddyo) ng’atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono. Mu katono ye Nakiguli eyattiddwa.

Eyatemudde mukwano gwe n'am...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganzi we mu bizinga by’e...

Halima Namakula.

Halimah Namakula awakanyizz...

Omuyimbi Halimah Namakula si mumativu n'ebyavudde mu kulonda omubaka akiikirira abakadde b'omu Buganda n'alumiriza...

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...