TOP

FDC egaanyi ebyavudde mu kulonda

Added 19th January 2021

PATRICK OBOI AMURIAT eyakwatidde FDC bendera ku bwapulezidenti mu kulonda okwakaggwa agambye nti takkiriziganya na byalangiriddwa akakiiko k'ebyokulonda ebyalaze nti Yoweri Tibuhaburwa Museveni, ye yawangudde ekifo kino.

Amuriat (wakati) ne Biriggwa ku kkono ku malaalo g'omugenzi Kaweesa.

Amuriat (wakati) ne Biriggwa ku kkono ku malaalo g'omugenzi Kaweesa.

PATRICK OBOI AMURIAT eyakwatidde FDC bendera ku bwapulezidenti mu kulonda okwakaggwa agambye nti takkiriziganya na byalangiriddwa akakiiko k'ebyokulonda ebyalaze nti Yoweri Tibuhaburwa Museveni, ye yawangudde ekifo kino.

Amuriat yalambuludde ensonga kwe yasinzidde okuwakanya ebyavudde mu kulonda.Yagambye nti ekisookera ddala, yakwatibwa ebitongole by'ebyokwerinda emirundi egiwera 13, ne bamulemesa okunoonya akalulu mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo nga kwe bagasse n'okumukuba ttiyaggaasi buli w'alaga.

Yagambye nti okugulirira abalonzi nakwo kweyolekedde nnyo mu kalulu kano ssaako okutiisatiisa abalonzi nga Gavumenti yeeyambisa abaserikale ba Poliisi n'amagye. "Ewaffe e Teso ne mu bitundu bya Lango ne Acholi, baatiisizzatiisizza abantu baffe nti ssinga tebalonda NRM, bajja kubayimbulira Abakaramoja babbe ebisolo byabwe byonna era mu kutya okungi abamu ne babalonda," Amuriat bwe yagambye.

Yalumirizza nti ekibba bululu nakyo kyabadde kya maanyi mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo. Amuriat era yagambye nti okuggyibwako kwa yintaneeti nakyo kyakoze kinene okulemesa bannansi okuwuliziganya n'okutambuza obubaka bw'ebyokulonda ate nga n'ebyuma by'akakiiko k'ebyokulonda (Biometric machines) nabyo byecanze mu bifo ebisinga.

FDC yagambye nti wadde nga balina obujulizi obumala okulumiriza akakiiko k'ebyokulonda ne Pulezidenti Museveni, baasazeewo obutagenda mu kkooti kubanga kijja kuba kizibu okufunayo obwenkanya olw'ensonga nti bagezesezza kkooti zino emirundi egiwera naye nga tebafunayo bwenkanya.

Amuiat, yasekeredde abaali bagamba nti FDC yaggwaamu n'abajjukiza nti kumpi mu buli kitundu kya Uganda, baafunyeemu omubaka wa palamenti era nga wonna awamu bali 32, wadde nga baali basuubira omuwendo okulinnya ku babaka 70.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...