TOP

2 bakubiddwa amasasi mu kulonda

Added 19th January 2021

ABANTU babiri okuli n'omujaasi ali ku ddaala lya Major baakubiddwa amasasi agaabattiddewo mu biseera by'okulonda nga poliisi n'ebitongole by'okwerinda baabadde baakwasisa amateeka n'okukuuma obutebenkevu.

Enanga ng’aliko by’ayogera ne Brig. Byekwaso ku kitebe kya poliisi e Naggulu ku Mmande. Ku kkono ye Frank Baine omwogezi w’ekitongole ky’amakomera.

Enanga ng’aliko by’ayogera ne Brig. Byekwaso ku kitebe kya poliisi e Naggulu ku Mmande. Ku kkono ye Frank Baine omwogezi w’ekitongole ky’amakomera.

ABANTU babiri okuli n'omujaasi ali ku ddaala lya Major baakubiddwa amasasi agaabattiddewo mu biseera by'okulonda nga poliisi n'ebitongole by'okwerinda baabadde baakwasisa amateeka n'okukuuma obutebenkevu.

Abaafudde kuliko omujaasi wa UPDF Maj. Noel Mwesigye eyakubiddwa amasasi e Kikyuusa mu Luweero mu ngeri etannategeerekeka, Peter Ssebunya ow'okukyalo Lwanika mu Mpigi ng'ono yakubiddwa essasi mu kugumbulula abavubuka abaabadde beekalakaasa mu Nyendo - Masaka, nga bawakanya ebyabadde birangiriddwa akakiiko k'ebyokulonda.

Betty Namugabo naye yakubiddwa essasi mu Nyendo e Masaka n'atwalibwa mu ddwaaliro gy'afunira obujjanjabi. Omwogezi w'amaggye, Brig Flavia Byekwaso yagambye nti amagye g'atandise okunoonyereza ku kyavuddeko okukuba Maj. Mwesigye amasasi kuba yabadde tali ku mulimu gwonna mu kitundu ekyo.

Yagambye nti abantu abamu baabadde n'ebigendererwa eby'okulumba abaserikale nga bakozesa ebissi omuli ne bbomu enkolerere. Yategezezza nti ab'ebyokwerinda baakoze ebikwekweto mu bitundu eby'enjawulo n'ebakwata abavubuka e Luzira, Kazo, Bwaise, Nyendo n'awalala. Yayongeddeko nti baakusigala nga bakuuma obutebenkevu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...