TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakugu balaze ebyasudde NRM mu Busoga ne Buganda

Abakugu balaze ebyasudde NRM mu Busoga ne Buganda

Added 19th January 2021

ABA NRM bakyatakula mitwe ku byavudde mu kalulu mu Buganda ne Busoga. Guno gwe gwabadde omulundi ogusooka, Pulezidenti Museveni okulemwa okuwangula mu Buganda ne Busoga bukya atandika okwesimbawo mu 1996.

Joel Ssennyonyi ne Nsereko nga bajaganya.

Joel Ssennyonyi ne Nsereko nga bajaganya.

ABA NRM bakyatakula mitwe ku byavudde mu kalulu mu Buganda ne Busoga. Guno gwe gwabadde omulundi ogusooka, Pulezidenti Museveni okulemwa okuwangula mu Buganda ne Busoga bukya atandika okwesimbawo mu 1996.

Muyingo.

Mu bululu obwavudde mu disitulikiti za Buganda zonna 27, Kyagulanyi yafunye ebitundu 62 ku 100 ate Museveni n'afuna ebitundu ebikunukkiriza 36 ku 100. Eky'okuwangulwa obubi mu Buganda kye kyasoose okukanga aba NRM, wabula ate baagenze okukyetegereza nga ne mu Busoga era baawanguddwa.

Ku disitulikiti za Busoga 11, Pulezidenti Yoweri Museveni (NRM) yawanguddeko ssatu zokka: Buyende, Kaliro ne Namutumba. Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) owa NUP yawangudde disitulikiti 8 n'atwaliramu ne Jinja City.

Ssekandi bwe yali yeewandiisa.

Disitulikiti Kyagulanyi ze yawangudde kuliko: Luuka, Bugweri, Namayingo, Mayuge, Iganga, Jinja, Kamuli ne Bugiri. Mu Busoga, Kyagulanyi yafunye obululu 437,059 ate Museveni n'afuna 404,862 nga kino kitegeeza nti mu Busoga, Kyagulanyi yasinze Museveni obululu 32,197.

Abakugu bagamba nti kino kisaanyaawo ebyogerwa aba NRM nti abalonzi mu Buganda beesigamye ku nsonga ya ggwanga okuwa aba NUP akalulu. Abakugu bagamba nti NRM erina okutunula ennyo ku bizibu ebiri mu Busoga ne Buganda ereme kukozesa busonga butono obuyinza okwongera okuginafuya mu bitundu ebyo ebibiri.

Kasolo.

Abakugu bongerako nti ebizibu ebiruma abantu mu Busoga bifaanana n'ebinyiga abantu mu Buganda era ky'ekiyinza okunnyonnyola lwaki baalonze mu ngeri esindika akabonero akaagala enkyukakyuka.

Banokolayo ensonga z'obwavu n'ebbula ly'emirimu ate ng'ebitundu byombi birimu obubuga bungi era ababubeeramu nga bakola mmere ya leero, kyokka nga ne bye bakola tebivaamu ssente zibamala kweyimirizaawo.

Ensonga eno ekwata nnyo ku bavubuka mu bitundu nga Jinja, Iganga, Kampala, Wakiso, Masaka n'ebibuga ebirala abatafunye mu pulogulaamu za gavumenti zirwanyisa bwavu.

Kibuule.

ETTAKA NE BAYINVESITA                                                                                                                                                    Siraje Nsanja omusomesa w'ebyobufuzi mu Kampala University yagambye nti, ensonga ezaawanguzza NRM mu Buganda ne Busoga zaabadde zifaanagana era nga zeetooloolera nnyo ku byenfuna n'enkulaakulana, obuweereza eri abantu n'okwemulugunya okuzze kukolebwa ku bitongole bya gavumenti naye nga tewali kinene kikolebwa kubugonjoola.

Yawadde ekyokulabirako ky'ensonga z'ettaka mu Buganda ng'ate abasengula abantu bawagirwa abamu ku bakungu ba gavumenti ekimazeemu abantu essuubi. Kino kinnyonnyola lwaki NUP yawangulidde waggulu disitulikiti nga Kassanda ezibadde zimanyiddwa nti za NRM n'etwala n'ebifo by'ababaka 3 era Dr. Micheal Bukenya owa Bukuya ye mubaka wa NRM yekka eyasimattuse mu disitulikiti y'e Kassanda.

Kyagulanyi yafunye obululu 44,285 ate Museveni n'afuna obululu 36,549. Enkaayana z'ettaka ezimu naddala e Kassanda zirimu bayinvesita nga Abid Alam n'abalala era abasengulwa bakiraba nga gavumenti etiitiibya bayinvesita ne yeerabira bannansi.

Mu nsonga z'okulima n'okutunda ebikajjo mu Busoga, abatuuze bakitunuulira nga gavumenti etiitiibya bayinvesita abalina amakolero ga ssukaali n'enyigiriza bannansi abalima ebikajjo. Kigambibwa nti waliwo abakungu mu gavumenti abakolagana n'amakolero ne bassaawo embeera eremesa abalimi okutunda ebikajjo mu makolero agabali ewala kyokka nga gagula ebikajjo ku bbeeyi ennungi.

Polof. Makara Sabiiti omusomesa w'ebyobufuzi mu yunivasite e Makerere yagambye nti ebbula ly'emirimu naddala mu bavubuka lisinze kukosa bitundu bya Buganda na Busoga omuli ebibuga n'obubuga obungi n'ebifo eby'omugotteko (ghetto) era abatalina mirimu bangi osanga nga baalonze Kyagulanyi ne NUP kuba abadde abawa essuubi lya Uganda Empya enaabeeramu emirimu.

Engaba y'emirimu emitono egyo egiriwo nayo abantu baludde nga bagyemulugunyaako nti erimu kyekubiira era osanga nakyo kyegasse ku nsonga kwe baasinzidde okulonda nga baagala enkyukakyuka.

Makara agamba nti mu Buganda ne Busoga mwe musinga leediyo, ttivvi n'emikutu gy'amawulire kw'ossa n'abali ku yintaneeti abangi era bawuliriza ebirowoozo bingi n'obubaka bungi obulaga ebiremye gavumenti n'ensimbi z'omuwi w'omusolo ezibbibwa, era nga kyandiba nga baasinzidde okwo okuwa Kyagulanyi owa NUP akalulu kaabwe.

AMAGYE AGAASINDIKIBWA KU NNYANJA                                                                                                         Ensonga endala Busoga gy'efaananya Buganda y'ey'amagye agaasindikibwa ku nnyanja okulwanyisa envuba embi. Ng'oggyeeko eby'okutulugunya abantu ebirudde nga byemulugunyizibwako ne bituuka ne mu Palamenti, enguzi ne bakayungirizi ababadde bakolagana n'abamu ku bajaasi okunyaga abavubi nakyo kyakosezza nnyo obuganzi bwa NRM.

Ensonga y'ennyanja eyogerwako ng'eyavuddeko NRM okulemwa okuwangula disitulikiti nga Kalangala, Buvuma, Buikwe, Mayuge, Namutumba z'erudde ng'ewangula. Kigambibwa nti ne Nakasongola, ensonga y'amagye ku nnyanja yakosezza NRM era gwe mulundi ogwasoose Museveni okufuna obululu obuli wansi w'ebitundu 70 ku 100 mu Nakasongola.

Ku mulundi guno, Museveni yafunye 64 ku 100 era Kyagulanyi n'asobola okufunayo ebitundu 33 ku 100 ekibadde kitabangawo. Pulezidenti Museveni we yakoledde enkyukakyuka mu bajaasi abaduumira ebikwekweto ku nnyanja ng'ebula wiiki ntono akalulu katuuke era n'akakiiko ke yataddewo akakulirwa Maj. Gen. Leopold Kyanda kaatandise emirimu mu December 2020 ate ng'akalulu ka January 14, 2021 ne katafuna budde kugonza mitima gy'abo abaakosebwa.

TOGIKWATAKO N'ENNEEYISA Y'ABASERIKALE                                                                                                        Nsanja agamba nti okukyusa ssemateeka ne baggyawo ekkomo ku myaka kyanyiiza abalonzi bangi naddala abaalina essuubi nti Pulezidenti Museveni agenda kuwummula mu 2021, atandike essuula empya ey'okuwaayo obuyinza mu mirembe nga NRM ereese omuntu omulala okuvuganya ku Bwapulezidenti.

Kirowoozebwa nti abaalina essuubi nti Pulezidenti agenda kuwummula, ku luno basazeewo obutamulonda okusindika obubaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...