TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Ssegirinnya nze ani okufuuka Honalebo nga nasooka kutembeeya mazzi ga bidomola ku ggaali'!!

'Ssegirinnya nze ani okufuuka Honalebo nga nasooka kutembeeya mazzi ga bidomola ku ggaali'!!

Added 19th January 2021

“BULIJJO mbadde mpita ku Palamenti obusajja (ng’ategeeza abaserikale) ne buntwala entyagi nga bugamba ndi wakyamu!





Naye kati ababadde bangobaganya be bagenda okuba nga bankubira saluti n'okunzigulirawo nga nze mpitawo mu masuuti mu mbeera ey'okulumya abayaaye."

Bwatyo omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya bwe yatandise ng'ayogera ku buwanguzi bwe yatuuseeko, by'ayiseemu n'engeri gye yeetegekeddemu palamenti.

Ssegirinya amanyiddwa nga Ddoboozi ly'e Kyebando ate abalala bamweyitira Mr. Update olw'okubeera ennyo ku mikutu gya social media ng'awa amawulire ku bintu ebyakagwawo n'ebigenda mu maaso mu ggwanga.

Bw'oyogera ku bantu abatobye n'ensi oba abayise mu ttanuulu, ono toyinza kumubuusa maaso era mu njogera ye yeewuunya engeri Katonda gy'amusaasiddemu okufuuka omubaka wa Palamenti. "Kituufu nga tonnafa teweevuma nsi!

Ani yali amanyi nti nze Ssegirinya waabwe eyali atembeeya amazzi g'omu bidomola ku ggaali, okufuna ffi izi nga ntunda bikajjo nga n'okujja mu Kampala nawalampa loole y'amatooke, nti ndifuuka ‘Honalebo' … Allah wa buyinza era njagala okuzzaamu amaanyi abo abalowooza nti bali bubi nti buyinza okukya nga mwe babaka."

Ssegirinya obwedda ayogeza essanyu yatuuse n'okugamba nti "Siraba lwaki balwisaawo n'okutulayiza, singa kisoboka nga bwe bayanguyizza okulonda n'ebyokulayira bandibyanguyizza ne tutalinda May kuba nze mpulira njagala kuweereza bantu bange.

Okuvuganya yakutandika 2011

Mu kalulu ka 2011 nnali mu luwummula lwa S6 nga njagala kuvuganya ku kya kkansala wabula olw'omubaka Latif Ssebaggala n'abantu be okunnyooma nasalawo muvuganye.

Eby'embi ekiseera ky'okwewandiisa kyatuuka nga nnina pass-lip naye nga sirina satifi keeti era bwe nagenda ku City Hall okwewandiisa eyali avunaanyizibwa ku kulondesa mu Kampala, Molly Mutazindwa yang'aana nga baagala satifi keeti ya S6.

Wano be nnali nvuganya nabo baatandika okusaasaanya amawulire nti bangobye mu kalulu. Wakati ng'amagezi ganneesibye waliwo eyampa amagezi nti ku UNEB basobola okunkolera satifi keeti ey'amangu bwe wabeerawo obwetaavu era 200,000/- ezaali ez'okwewandiisa ze nawa abantu bange ne badduka ku UNEB.

Satifi keeti nagifuna ate ne nzira mu lutalo lw'okusonda emitwalo 20 ez'okwewandiisa. Allah mulungi bansondera ne nzifuna era olunaku olwo nze gwe baasembayo okuwandiisa.

Wadde wano nali mpiseewo nafuna obuzibu okumatiza abalonzi nti bampandiisizza olw'olugambo bannange lwe baali bamaze okusaasaanya era ekyannyamba lwali lupapula lwa Bukedde bwe lwafulumya amannya g'abaali bavuganya ku kifo kya Kawempe North nga kwendi era ne ku pulogulaamu y'Akabbinkaano ku Bukedde TV Sseruga yatukyaza.

Nasigala neepiikira ekifo ky'omubaka okutuusa lwe nakomyewo ku mulundi guno era nakiwangudde

AKALULU KANGOBYA MU NJU

Ssegirinya agamba nti nga batandise okunoonya akalulu ,nnannyini nju mwe yali asula yamugoba nti agenda kulundiramu nkoko. Nakimanya luvannyuma nti gwali mupango.

Nga bamaze okungoba mu nju ne nfuna we mbudama, omubaka yakuba olukung'aana we nnali nsula nti balonde omuntu alina amaka nga bamanyi ne w'abeera so si mupangisa asenguka.

Embeera yali nzibu nnyo anti ne ssente z'okuwa abantu okukuuma obululu bwange zambula naye ekyewuunyisa nti ku bantu omunaana abaavuganya nakwata kyakubiri.

Ssegirinya abadde yeenyigira mu kugogola emyala, okukola bulungibwansi ate ne mu kiseera kya Covid-19 akamere we kaafuukira akamere yafunanga obuwunga n'abuteeka mu buveera n'agenda ng'agabira abantu. Azze atoba n'abeebyokwerinda abazze bamukwata okumutangira okwekalakaasa.

"BULIJJO mbadde mpita ku
Palamenti obusajja (ng'ategeeza
abaserikale) ne buntwala
entyagi nga bugamba ndi
wakyamu! Naye kati ababadde
bangobaganya be bagenda
okuba nga bankubira saluti
n'okunzigulirawo nga nze mpitawo
mu masuuti mu mbeera
ey'okulumya abayaaye."
Bwatyo omubaka omulonde
owa Kawempe North, Muhammad
Ssegirinya bwe yatandise
ng'ayogera ku buwanguzi
bwe yatuuseeko, by'ayiseemu
n'engeri gye yeetegekeddemu
palamenti.
Ssegirinya amanyiddwa
nga Ddoboozi ly'e Kyebando
ate abalala bamweyitira Mr.
Update olw'okubeera ennyo ku
mikutu gya social media ng'awa
amawulire ku bintu ebyakagwawo
n'ebigenda mu maaso mu
ggwanga.
Bw'oyogera ku bantu
abatobye n'ensi oba abayise
mu ttanuulu, ono toyinza kumubuusa
maaso era mu njogera
ye yeewuunya engeri Katonda
gy'amusaasiddemu okufuuka
omubaka wa Palamenti.
"Kituufu nga tonnafa teweevuma
nsi! Ani yali amanyi
nti nze Ssegirinya waabwe
eyali atembeeya amazzi g'omu
bidomola ku ggaali, okufuna ffi izi
nga ntunda bikajjo nga n'okujja
mu Kampala nawalampa loole
y'amatooke, nti ndifuuka ‘Honalebo'
… Allah wa buyinza era
njagala okuzzaamu amaanyi abo
abalowooza nti bali bubi nti buyinza
okukya nga mwe babaka."
Ssegirinya obwedda ayogeza
essanyu yatuuse n'okugamba
nti "Siraba lwaki balwisaawo
n'okutulayiza, singa kisoboka
nga bwe bayanguyizza okulonda
n'ebyokulayira bandibyanguyizza
ne tutalinda May kuba
nze mpulira njagala kuweereza
bantu bange.
Mu kalulu ka 2011 nnali mu luwummula lwa S6
nga njagala kuvuganya ku kya kkansala wabula
olw'omubaka Latif Ssebaggala n'abantu be
okunnyooma nasalawo muvuganye.
Eby'embi ekiseera ky'okwewandiisa kyatuuka
nga nnina pass-lip naye nga sirina satifi keeti era
bwe nagenda ku City Hall okwewandiisa eyali
avunaanyizibwa ku kulondesa mu Kampala,
Molly Mutazindwa yang'aana nga baagala
satifi keeti ya S6. Wano be nnali nvuganya nabo
baatandika okusaasaanya amawulire nti bangobye
mu kalulu.
Wakati ng'amagezi ganneesibye waliwo eyampa
amagezi nti ku UNEB basobola okunkolera
satifi keeti ey'amangu bwe wabeerawo
obwetaavu era 200,000/- ezaali ez'okwewandiisa
ze nawa abantu bange ne badduka ku UNEB.
Satifi keeti nagifuna ate ne nzira mu lutalo
lw'okusonda emitwalo 20 ez'okwewandiisa. Allah
mulungi bansondera ne nzifuna era olunaku
olwo nze gwe baasembayo okuwandiisa.
Wadde wano nali mpiseewo nafuna obuzibu
okumatiza abalonzi nti bampandiisizza
olw'olugambo bannange lwe baali bamaze
okusaasaanya era ekyannyamba lwali lupapula
lwa Bukedde bwe lwafulumya amannya g'abaali
bavuganya ku kifo kya Kawempe North nga
kwendi era ne ku pulogulaamu
y'Akabbinkaano ku Bukedde TV Sseruga
yatukyaza. Nasigala neepiikira ekifo ky'omubaka
okutuusa lwe nakomyewo ku mulundi guno era
nakiwangudde
AKALULU KANGOBYA MU NJU
Ssegirinya agamba nti nga batandise okunoonya
akalulu ,nnannyini nju mwe yali asula
yamugoba nti agenda kulundiramu nkoko.
Nakimanya luvannyuma nti gwali mupango.
Nga bamaze okungoba mu nju ne nfuna we
mbudama, omubaka yakuba olukung'aana we
nnali nsula nti balonde omuntu alina amaka nga
bamanyi ne w'abeera so si mupangisa asenguka.
Embeera yali nzibu nnyo anti ne ssente
z'okuwa abantu okukuuma obululu bwange
zambula naye ekyewuunyisa nti ku bantu omunaana
abaavuganya nakwata kyakubiri.
Ssegirinya abadde yeenyigira mu kugogola
emyala, okukola bulungibwansi ate ne mu
kiseera kya Covid-19 akamere we kaafuukira
akamere yafunanga obuwunga n'abuteeka mu
buveera n'agenda ng'agabira abantu.
Azze atoba n'abeebyokwerinda abazze
bamukwata okumutangira okwekalakaasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

KCCA yeddizza ekibangirizi ...

ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky’ettaka lya KCCA basobeddwa bw’ekizinzeeko n’ekikubako olukomera...

Nanyonga (owookubiri ku, kkono) ne Mmeme nga bazannya KCCA.

Meeme ne Nanyonga: Omu yazi...

RUTH Meeme ne Racheal Nanyonga babasi ba mupiira. Bazanyiddeko ku ttiimu y’eggwanga (She Cranes), era bawangudde...

Lagu (ku ddyO), Spice Diana ne Rema Namakula.

Omusawo awabudde ku bagenda...

ABASAWO bawabudde ku baagala okutonera omuyimbi Evelyn Lagu ensigo basooke babakebere. Ku mukolo gw’okwoza emmotoka...

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...