TOP

Bakutte abavubuka b'oku Kaleerwe n'ebiso

Added 19th January 2021

ABASUUBUZI mu lufula y’oku Kaleerwe baloopye akabinja k’abavubuka akabadde n’ebissi nga kigambibwa nti babadde bateekateeka kubikozesa mu kwekalakaasa.

Omuserikale ng'akutte omu ku basajja abaakwatiddwa.

Omuserikale ng'akutte omu ku basajja abaakwatiddwa.

ABASUUBUZI mu lufula y'oku Kaleerwe baloopye akabinja k'abavubuka akabadde n'ebissi nga kigambibwa nti babadde bateekateeka kubikozesa mu kwekalakaasa.

Frank Ayo akulira poliisi y'oku Kaleerwe ng'ayambibwako amagye ne LDU be baakutte abavubuka bano. Baasangiddwa n'obwambe, ebiso, butida n'ebintu ebirala.

Ssaalongo Julius  Ssekabira  yagambye nti mu kiro ekyakeesezza ku Ssande, abavubuka bano baasoose kukanyugira abaserikale amayinja ekyabatiisizza.

Ebimu ku biso bye baakutte n'abavubuka.

Baakoze omuyiggo ne bakwatako abamu ate abalala ne babakwata enkeera. Kigambibwa nti Geoffrey Luboyera 27,  omukozi mu Lufula  ye yabadde n'ebissi bino ate abalala ne babakwata olw'obutagoberera mateeka ga kulwanyisa COVID 19 ng'era bonna awamu bali 30.

Sulaiman Ssekannyo akulira abasuubuzi mu lufula yategeezezza  nti aba lufula tebalina kakwate na bikolwa by'abavubuka bano  kubanga ebiso n'obwambe bwe bakozesa babikung'aanyiza wamu nga bannyuse.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...