TOP

Aba P7 bafunye ebinaabayisa mu PLE

Added 20th January 2021

ESSOMERO ly'abaana bamulekwa ne bakateeyamba baweereddwa emmere enaabayisa mu kiseera ky'okukola ebibuuzo bya PLE.

Omu ku baana aba P7 ng’afuna ebikozesebwa.

Omu ku baana aba P7 ng’afuna ebikozesebwa.

ESSOMERO ly'abaana bamulekwa ne bakateeyamba baweereddwa emmere enaabayisa mu kiseera ky'okukola ebibuuzo bya PLE.

Akulira essomero lya Divine Junior Academy e Namubiru mu ggombolola y'e Nama mu disitulikiti y'e Mukono Joseph Mukiibi ategeezezza nti, balabirira abaana abaliko obulemu, bamulekwa n'okusomesa abateesobola wabula ng'obuzibu buli mu kubaliisa.

Joseph Mukiibi ategeezezza nti yalina abayizi abayambibwa 25 kyokka obulwadde bwa corona bwe bwajja abamu ne batwalibwa mu byalo ate ssente ezibakomyawo ne zibula era bangi tebagenda kutuula PLE. " Ssennyiga yatukosa nnyo tubadde n'abaana nga tetulina kyakubaliisa, abalina okusasula ku fiizi nga nazo tezivaayo, essomero liri ku musingi gwa kuyamba", Mukiibi bwe yategeezezza.

Embeera eno ewalirizza aba Stanbic Bank okubawa obuwunga, amasuuka, kompyuta, ebyuma ebyokya empapula, amata, sooda, ebizigo, ebitabo, ekkalaamui, sabbuuni n'ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...