TOP

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

Added 20th January 2021

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago anaasimattuka omuyaga gwa manvuuli ya NUP? Lukwago ali ku ttikiti ya FDC era attunka ne Nabirah Naggayi Ssempala owa NUP nga basisikana Daniel Kazibwe (Ragga Dee) owa NRM kw'ossa Joseph Mayanja (Jose Chameleone) n'abalala musanvu abali mu lwokaano.

Nabirah.

Nabirah.

Bya JOSEPH MAKUMBI

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago anaasimattuka omuyaga gwa manvuuli ya NUP? Lukwago ali ku ttikiti ya FDC era attunka ne Nabirah Naggayi Ssempala owa NUP nga basisikana Daniel Kazibwe (Ragga Dee) owa NRM kw'ossa Joseph Mayanja (Jose Chameleone) n'abalala musanvu abali mu lwokaano.

Erias Lukwago.

Lukwago enkizo gy'alina ya kubeera ng'ekifo kya Loodi Meeya akibaddemu okuva lwe kyatandika mu 2011 era kino asaba kisanja kyakusatu newankubandde nga ne Naggayi abadde mubaka omukazi owa Kampala okuva 2006 era ekitundu Lukwago mw'abadde anoonya akalulu nga ky'ekitundu kyennyini ne Naggayi mw'azze yeesimbawo.

Bangi abavuganya n'abaavuganyako mu kalulu ku bifo eby'enjawulo mu Kampala balaga we bayimiridde ku mbeera y'omuyaga gwa manvuuli n'akalulu ka Kampala. Hajji Nasser Takuba eyaliko Mmeeya wa Kawempe yategeezezza nti Lukwago okusimattuka omuyaga guno alina okuba ng'akoze ekimala mu kulaga abalonzi nti alina enjawulo nnene ku bantu abamuvuganya, olwo ne bamulonda nga ye omuntu nga tebalowoozezza ku kibiina mw'ajjidde.

Kibirango.

Yagambye nti ekintu ekirala ekiyinza okuyamba Lukwago kwe kuba ng'abaalonda manvuuli wiiki ewedde abamu baggwaamu ebbugumu ne bakomawo leero nga bakkakkamu ne basengejja abeesimbyewo omu kw'omu nga tebagendedde ku bubonero bwa bibiina kubanga mu kiseera kino "manvuuli" yabuutikidde "ekisumuluzo" ne "bbaasi" mu Kampala.

Lukwago abadde aweereza obubaka obulaga nti akwatagana bulungi ne NUP n'omukulembeze waayo Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) nti era kino kyandiba nga kimuyambye, wabula ate n'abasaasaanya obubaka obulaga nti abawagizi ba Kyagulanyi balina kulonda bali ku "manvuuli" nabwo bukosezza obuwagizi bwa Lukwago nga ne bw'aba wa kuwangula, ayinza obutawangulira ku bululu bungi nga bwe yafuna mu 2011 ne 2016.

Fred Male.

Israel Mayengo eyavuganyizza mu kalulu k'ababaka abakiikirira abakadde kyokka n'awangulwa yagambye nti Lukwago obutasanga buzibu alina okuba nga yakwataganye n'abamu ku bakulembeze ba NUP obutamulaba ng'omulabe wabula bamutunuulire ng'ali mu kisinde kimu eky'enkyukakyuka.

Mayengo yayongeddeko nti Lukwago azimbye erinnya ebbanga ddene ng'omuntu atakyukakyuka ekiyinza okumuyamba mu balonzi ate nga n'abamuvuganya balina ensonga ez'enjawulo abalonzi ze baboogerako, ekiyinza okuwa Lukwago enkizo.

Ssemakula.

Kyokka yagambye nti, ekyo Lukwago tasaanye kusuula nnanga kubanga omuyaga bwe gujja, abantu baba baagala nkyukakyuka era olumu balonda n'abantu be batamanyi. Yawadde eky'okulabirako kya 1971, abantu baajaguza nga Milton Obote avudde ku bukulembeze Idi Amin n'abutwala wadde ssi gwe baali baagala ennyo.

Ssewava Sserubiri yagambye nti, wadde omuyaga weeguli, si buli wabadde okulonda nti, baalonze manvuuli n'agamba nti, ebifo ebimu abantu baalonze muntu okusinziira ku busobozi. Yalambuludde nti: Mu Kampala Central, Fred Nyanzi yabadde ku manvuuli, wabula Mohammad Nsereko atalina kibiina n'ayitamu ate e Kira, waabaddeyo ali ku manvuuli Jimmy Lukwago naye baalonze Ibrahim Ssemujju Nganda owa FDC.

Waliwo n'abali mu NUP naye nga bawagira Lukwago mu kalulu kano naddala Betty Nambooze ne Allan Ssewanyana. Allan Ssewanyana omubaka wa Makindye West yagambye nti wadde wa NUP era ye tiketi kwe yagendedde mu palamenti, muwagizi wa Lukwago era ne bakama be mu kibiina kya NUP yabategeeza w'ayimiridde n'abawa n'ensonga ze.

Omubaka wa Munisipaali y'e Mukono, Betty Nambooze olwamaze okuwangula ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde n'ategeeza nti agenda kuzingulula engugu ye agikube mu Kampala okutuusa ng'akalulu ka Lukwago kawedde okulangirira.

Kyokka abamu ku bali mu NUP abaagaanye okuwagira Lukwago bagamba nti baali bamusuubira okuyimirira ne Kyagulanyi mu kalulu wabula n'asalawo okugenda mu FDC era nabo bagenda kukola ekisoboka okuyisaawo omuntu waabwe.

Yagasseeko nti mu bibalo byabwe, olukiiko lwa KCCA lusuubirwa okubeeramu bakkansala ba NUP abangi olw'omuyaga gwa manvuuli era bakiraba ng'ekijja okwanguya emirimu gya kkanso nga balonze Loodi Meeya ali mu kibiina ekimu ne Bakansala. Abaagala obwakkansala mu NUP nabo babadde batambuza njiri ya Naggayi ekiyinza okukosa obululu Lukwago bwe yandifunye.

EBITUNDU EBIRALA:

Ebitundu ebirala bingi omuyaga gye gwayise nga balonda ababaka ba Palamenti. Guno gwalese Baminisita 11 abava mu bitundu bya Buganda nga gubakubye ku ttaka. Mityana waliyo Joseph Luzige ssentebe abaddeko era ali mu lwokaano ng'ono avuganya ne Patrick Mugisha owa NUP wamu ne Abdul Muyimbwa atalina kibiina.

Okuva emabega Mityana ebadde ekulemberwa NRM kyokka akalulu akaawedde omubaka omukazi Judith Nabakooba abadde ku tikiti ya NRM baamuwangudde. E Mukono okuvuganya okw'amaanyi kuli wakati wa Rev. Peter Bakaluba Mukasa owa NUP attunka ne Hajji Harunah Ssemakula owa NRM.

Ekifo kino kibaddemu Andrew Ssennyonga Luzindana owa NRM kyokka mu kamyufu baamuwangula n'akomawo nga talina kibiina. Masaka City abavuganya kuliko Florence Namayanja ono abadde mubaka wa Bukoto East ebisanja bibiri bwe baatonzeewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...