TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyattiddwa omulambo ne bagusuula mu kibira asattizza ab'e Mukono

Eyattiddwa omulambo ne bagusuula mu kibira asattizza ab'e Mukono

Added 20th January 2021

Poliisi nga yekebejja omulambo ogw'asangiddwa mu kibira

Poliisi nga yekebejja omulambo ogw'asangiddwa mu kibira

ABATEMU bwe baakwata Rogers Ssemakula, baamuwalawala ne bamuggya okumpi awali abantu ne bamutambuza mayiro nga nnamba ne bamuyingiza mu kibira kya NARO ku kyalo Mulaje mu muluka gw'e Kabembe gye baamuttira. 

Omulambo gwe, gwasangiddwako ebituli ku magulu era abaserikale okuva ku poliisi y'e Naggalama abaggyeeyo omulambo, bateebereza nti, yasooka kutulugunyizibwa.

Umar Kaweesa mukwano gwa Ssemakula olwamugambye nti, bazudde omulambo gwa Ssemakula ku Lwokubiri emisana n'atema omulanga.

Yagambye nti, ‘woooowe, Ssemakula yajja ewange ng'adduka n'agamba abaserikale bamugoba nansaba eddagala anaabe n'agamba k'agende yekweke mu mimwanyi, woooowe Ssemakula bakusse bubi mukwano, baakusse bubi.'  

Baamwambula engoye ze yalimu okwali essaati ey'obukuubo obumyufu ne wovulo eya kacungwa ne baziteeka ku bbali olwo ne balyoka bamutta.

Ensingo, yasangiddwa nga baaginyigira wakati w'amatabi g'omuti ng'omulambo gwe gutandise okuvunda.

Abatemu banoonya ekifo ekiziyivu awali obuyukiyuki obwasaakatira waki mu kibira gye baamuttira era poliisi yasoose kusaawa kibira n'okutema emiti ensingo mwe baaginyigira okusobola okuggyayo omulambo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, baafunye amawulire ku muntu eyattibwa n'asuulibwa mu kibira abakugu mu kwekeneenya ebifo awazziddwa emisango ne basindikibwayo ne bazuula omulambo nga gutandise okuvunda.

Yagambye nti, omulambo ogwazuuliddwa guteeberezebwa okuba ogwa Rogers Ssemakula 30 era gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago okwekebeggyebwa.

Yagasseeko nti, baakutte abantu babiri okuli Kenneth Wakasaana ne Anthony Kiwanuka babayambeko okunoonyereza era bagguddewo ffayiro 003/2021 ku poliisi y'e Naggalama okubuuliriza ku nfa ya Ssemakula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

RDC agumizza ab'e Kasangati...

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka...

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...