TOP

Gavt. eyongezzaayo ekkomo ku paasipooti enkadde

Added 20th January 2021

PAASIPOOTI ez'obutabo enkola enkadde zaayimirizibwa okugabibwa mu 2018 wabula ng'abazirina zaasigala zikyakolera wamu n'ezo ezigabibwa mu nkola empya eza e-passport.

Paasipoti enkadde bw’efaanana.

Paasipoti enkadde bw’efaanana.

Bya SAMUEL BALAGADDE
PAASIPOOTI ez'obutabo enkola enkadde zaayimirizibwa okugabibwa mu 2018 wabula ng'abazirina zaasigala zikyakolera wamu n'ezo ezigabibwa mu nkola empya eza e-passport.
Wabula paasipoti enkola enkadde zaali zassibwako ekkomo lya Jan 31, 2021 wabula ne zongozebwayo okusigala nga zikola okutuuka mu April omwaka ogwa 2022. Jacob Siminyu omwogezi wa minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga yakakasizza nti nsalessale ku paasipoti enkadde yayongezeddwaayo okutuuka mu mwezi gwa April omwaka ogujja ogwa 2022.
Yagambye nti kino kyavudde ku kutaataganyizibwa okuliwo okwaleeteddwa ekirwadde kwa corona.
William Busuulwa ssentebe w'ekibiina ekigatta abasaabaza ebyamaguzi mu ggwanga ekya Uganda National Transporters Alliance (UNTA) yagambye nti kino kigenda kwongera okuwa buli muntua omukisa okukola ku paasipoti empya mu budde awatali kupapa kubanga ebbanga eribaweereddwa limala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...

Ssentebe Bbaale (ayambadde enkofiira) n’abatuuze. Ow’okubiri ku kkono ye Ssendi.

▶️ Ab'e Mutundwe batabukid...

ABATUUZE mu zooni ya Kweba e Mutundwe, bavudde mu mbeera ne balumba ekkolero ly'omugagga Joseph Kiyimba, nnannyini...

Amaka ga Muzaata (mu katono).

Bamaseeka bambalidde minisi...

BAMASEEKA bambalidde minisita Nakiwala Kiyingi ku ky'okuzza Kluthum Nabunnya mu maka g'omugenzi Sheikh Muzaata...