TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaliko obulemu ku mibiri balonze ababaka baabwe

Abaliko obulemu ku mibiri balonze ababaka baabwe

Added 20th January 2021

ABANTU abalina obulemu ku mibiri gyabwe beetabye mu kulonda kw'ababaka baabwe abanaabakiikirira mu Palamenti. Okulonda kuno kubadde ku Civil Service College of Uganda e Jinja ku Mmande era nga kwetabyemu abalonzi 730 nga baakiikiridde disitulikiti 146.

Laura Kanushu.

Laura Kanushu.

Bya DONALD KIIRYA

ABANTU abalina obulemu ku mibiri gyabwe beetabye mu kulonda kw'ababaka baabwe abanaabakiikirira mu Palamenti. Okulonda kuno kubadde ku Civil Service College of Uganda e Jinja ku Mmande era nga kwetabyemu abalonzi 730 nga baakiikiridde disitulikiti 146.

Alex Ndeezi.

Buli disitulikiti yakiikiriddwa ababaka bataano abaalonze ababaka. Abantu 17 be beesimbyewo era basatu be battunse ku kifo ky'omubaka omukazi nga kwabaddeko Agnes Nasirumbi (Ind), Safia Nalule ng'ono y'abaddeyo mu Palamenti ne Laura Kanushu (NRM).

Bumali Mpindi

Abalala 14 baabadde battunka okuwangula ebifo ebina eby'abakiikirira abalina obulemu mu Palamenti mu ggwanga. Abeesimbyewo baasoose kukuyega balonzi ne basuubiza okutumbula embeera zaabwe n'okuyamba okubaga amateeka agatanyigiriza bantu be bakiikirira.

Joyce Acan

Okulonda bwe kwatandise, Mukomeewo mu Kampala mukole - Magye Abaliko obulemu ku mibiri balonze ababaka baabwe Maj. Katamba bamuzibe baabadde n'abantu abaabayambyeko okukuba obululu bwabwe. Okulonda kwakubiriziddwa akulira ebyokulonda mu kitundu kya Kiira, Emmanuel Masiko ng'ayambibwako Stuart Tamale.

Hellen Asamo.

Laura Kanushu (NRM) ye yalangiriddwa ku kifo ky'omubaka wa Palamenti omukazi akiikirira abalima obulemu nga yawangudde Agnes Nasirumbi ne Safia Nalule ng'ono y'abaddeyo nga beesimbyewo ku bwa nnamunigina. Kanushu yafunye obululu 538, Nalule n'afuna obululu 175 ate Nasirumbi 10.

Ababaka abalala abaalondebwa kuliko; Hellen Asamo, Alex Ndeezi, Joyce Acan ne Bumali Mpindi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...