
AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti babesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda okuvaayo babawe obujulizi nabo basobole okukinonyerezaako bakiteeke mu alipoota enzijuvu gye banaafulumya gye bujja.
Wabula ko akakiiko kategeezezza nti ttiimu yaako eyabadde erondoola akalulu teyafunyeeyo bujulizi bulaga nti waliwo agenti w'eyesimbyewo eyakwatibwa oba okulemesebwa okukola omulimu gwe ku lunaku lw'okulonda, era akalulu kaabadde ka mazima na bwenkanya.
Bino byogeddwa akola nga Ssentebe w'akakiiko kano Dr. Amooti Katebalirwe wa Irumba mu lukungaana lw'abannamawulire lwatuuzizza ku wofiisi z'akakiiko kano ezisangibwa ku Twed Plaza mu Kampala olwaleero.
Akakiiko era kawagidde eky'okujjako yintanenti ne kakagamba nti gavumenti yakikoledde mu mateeka nga yesigama ku nyingo eya 43 eya ssemateeka ewa gavumenti obuyinza okujjako abantu eddembe lyabwe ery'obwebange singa ebeera ekikolera mu mbeera ey'okutaasa abantu.
Ayongeddeko nti naye ng'omuntu yeewulirirako ng'abantu abamu batiisatiisa okufuula Uganda Libya oba Somalia, ekintu gavumenti kye yabadde teyinza kukkiriza. Wadde ng'eddembe ly'abantu okufuna amawulire n'okwogera bye baagala lyabagyiddwako nga yintanenti teriiko naye Akakiiko kagamba nti kyali kituufu okukolebwa.
Era kawagidde n'amagye agaayiiriddwa mu bitundu ebitali bimu okwetooloola eggwanga ne kagamba nti kyayambye abantu okulonda nga tewali kibatiisa.
Abakulu mu kakiiko era bagambye nti baakukyalira ku Robert Kyagulanyi Ssentamu n'abebyokwerinda bamanye ekituufu ekigenda mu maaso n'okuwa enjuyi zombi amagezi okukola bye zikola nga zigoberera amateeka.