
OMUTENDESI wa ttiimu y'eggwanga eyabali wansi w'emyaka 20 ‘The Uganda Hippos', Morley Byekwaso ayise abazannyi 38 bayingira enkambi batandike okwetegekera empaka z'olukalu lwa Africa ezigenda okubeera e Mauritius.
Uganda yayitamu okuzannya mu mpaka za AFCON U20 omulundi ogusooka mu byafaayo oluvanyuma lw'okuwangula eza CECAFA ezaali e Tanzania mu November omwaka oguwedde.
Ttiimu eyingidde enkambi mu Cranes Paradise Hotel e Kisaasi olwo batandike okutendekebwa enkya e Lugogo mu kisawe kya Philip Omondi akawungeezi.
Omuwuwutannyo Bobos Byaruhanga n'omuzibizi Aziz Kayondo abali ne Ugand Cranes e Cameroon mu mpaka za African Nations Championship (CHAN) be bamu ku bali ku lukalala okuli n'abazannyi abalala babiri; Samuel Kitaka (Loughborough University) ne Nathan Odokonyero (Lincoln City) abavudde e Bungereza.
Byaruhanga ne Kayondo baakwegata ku ttiimu eno oluvanyuma lw'okwetaba mu mpaka za CHAN ng kinasinziira ku luzannya ki Uganda kwenekoma.
Empaka ez'akamalirizo zaakuzannyibwa wakati wa February 14 ne March 6, 2021.
Abazannyi bayitiddwa;
Abakwasi ba ggoolo;
Jack Komakech, Ronald Kiberu, Delton Oyo, Denis Ssenyondwa, Daniel Ochama ne Peter Kato.
Abalala kuliko; Gavin Kizito Mugweri, Keneth Ssemakula, Abdul Aziizi Kayondo, Musa Ramathan, Joseph Kafumbe, Robert Kitabalwa, James Begisa, Simon Baligeya, Richard Bbosa, Isma Mugulusi, Najib Yiga, Steven Sserwadda, Bobos Byaruhanga, Umar Lutalo, john Kokas Alou, Swamadu Okur, Ivan Eyam, Andrew Kawooya, Ivan Asaba, Davis Ssekajja, Faisal Wabyona, Ivan Bogere, Samuel Ssenyonjo, Derrick Kakooza, Richard Basangwa, Nathan Odokonyero, Samuel Kitaka, Joseph Bukenya Kizza, Raymind Onyai, Ashiraf Mulindi, Emmanuel Mukasa ne Alpha Ssali.