
Eddy Mutwe.
BALOOYA ba NUP baddukidde mu kkooti enkulu ne bassaayo okusaba kwabwe nga baagala Eddy Mutwe ne banne kkooti y'amagye ebakkirize okweyimirirwa. Munnamateeka Benjamin Katana Kagiremire okuva mu Pace Advocates ye yawaddeyo ensonga kwe baagala kkooti esinziire eyimbule abasibe 49 abali mu kkomera e Kitalya.

Katana yagambye, ddembe ly'abasibe okuyimbula ku kakalu ka kkooti, kubanga balina abantu ababeeyimirira ate nga balina amaka mu bitundu bya kkooti eno by'etwala.
Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe, Ali Bukeni (Nubian Li) ne bannaabwe 47 baakwatibwa nga December 30, 2020 e Kalangala Bobi Wine bwe yali agenze mu kitundu kino okunoonya akalulu ne basimbibwa mu kkooti e Masaka ne bavunaanibwa okukola ekikolwa ekiyinza okusaasaanya ekirwadde kya corona.
Abalala kuliko; Rachael Akiiki Tusiime, Saphinah Nansovo, Jamira Namwanje, Hassan Ssemakulu, Kenny Kyalimpa, Ntambi Mudde Robinson, Lukeman Mwijukye, William Nyanzi, John Miiro n'abalala nga bavunaanibwa okusangibwa n'amasasi 4 ag'emmundu ekika kya AK47.
Katana yagambye nti bano omusango gwabavunaanibwa mu kkooti y'amagye e Makindye kyokka kkooti teyatudde ku lunaku lwe yabawa noolwekyo kkooti enkulu esaana ebakkirize beeyimrirwe bayimbulwe.
Balooya era bagamba nti abawawaabirwa beetegefu okugondera ebiragiro bya kkooti byonna ate nga tebasobola kutaataaganya kunoonyereza kwa ludda oluwaabi noolwekyo kkooti ebayimbule balye butaala.
Bannamateeka bano baakedde ku kkooti y'amagye e Makindye gye baabadde bagenze okuddamu okuwulira omusango kubanga gwali gwaweebwa January 19, kyokka kkooti teyatudde olwo ne bassaamu okusaba kwabwe.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti abawawaabirwa nga January 3, 2021 e Makerere - Kavule mu Kiggundu zooni baasangibwa n'amasasi aga UPDF nga tebalina lukusa lubakkiriza kubeera nago.
Balooya mu kusaba kwabwe baataddeyo amannya g'abantu abagenda okubeeyimirira ssaako ebbaluwa z'ebyalo gye babeera, kkooti kw'ebeera esinziira ebayimbule.