
OKULONDA mu kawempe abalonzi baabadde batono nnyo ng'abeesimbyewo obwedda babanoonya muzigo ku muzigo okubeegayirira okugenda okulonda
Obutafanaanako n'okulonda kwa pulezidenti n'ababaka ba palamenti abalonzi baakeera ku makya mu bungi ne balonda ku luno abalonzi abasinga baakedde ku mirimu gyabwe kukola ng'abamu ku beesimbyewo baategeezezza nti abannayuganda baagwamu amaanyi mu kulonda kwa pulezidenti nga kye kibaviridde obutajjumbira ku luno .

Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe yategeezezza nti abeesimbyewo babadde balina okwongeramu okukuyega abalonzi , waliwo ne mmotoka ezaakwatiddwa n'abaazibaddemu mu kiro ekyakeesezza ku Lwokusatu nga kigambibwa za Lord Meeya Erias Lukwago zabaadde ababba obululu poliisi n'ebakwata

