TOP

Ab'e Kayunga tebajjumbidde kulonda

Added 20th January 2021

OKULONDA Ssentebe wa disitulikiti ne Bakansala b'e Kayunga kutandise kikeerezi olw'abalonzi okulwawo okugenda mu bifo awalonderwa.

Ffeffekka Sserubogo ng'akuba akalulu.

Ffeffekka Sserubogo ng'akuba akalulu.

Bya SAUL WOKULIRA    

OKULONDA Ssentebe wa disitulikiti ne Bakansala b'e Kayunga kutandise kikeerezi olw'abalonzi okulwawo okugenda mu bifo awalonderwa.

          Ebikozesebwa byatuuse mangu ku ssaawa 12:00 ez'oku makya wamu n'abalondesa wabula abalonzi batandise okutuuka ku ssaawa 3:00 ez'oku makya.

         Ku ofiisi z'akakiiko k'ebyokulonda wabaddewo okwesika ebitoji ng'abaserikale abakuuma obululu n'abalondesa ng'abaserikale balemedde bbokisi z'obululu olw'abakulira eby'okulonda obutabawa ssente z'entambula 10,000/- era abamu ku baserikale tebaagenze we balondera.

          Olwokaano lwa bassentebe lulimu abantu mwenda wabula ng'abali ku mbiranyi kuliko Andrew Muwonge owa NRM ne Ffeffekka Sserubogo owa NUP.

          Sserubogo alondedde Kyebanja ku sitoowa ate Muwonge alondedde Nakaliro. Mu bifo ebimu awalonderwa tewabaddewo buuma obukebera ekigalo ne bwiino ow'okusiiga ku ngalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...