
Mayiga ng'ayogera.
Bya DICKSON KULUMBA
KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye baalonzeemu mu kalulu k'Obwapulezidenti n'ababaka ba Palamenti wiiki ewedde tekwesigamiziddwa ku mawanga wabula kyavudde ku bizibu ebingi ebifumbekedde mu kitundu kino.
Bino yabyogedde oluvanyuma lw'okulonda ku Lwokusatu mu Lweza B mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y'e Wakiso.
Yagambye nti Buganda erina ebizibu bingi bye yayogeddeko ng'ebiyinza okuba nga bye byaleetedde abantu okuyiira Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu obululu.
"Eby'obulamu, eby'enjigiriza, obwavu, ebbula ly'emirimu, enguudo embi, obuli bw'enguzi n'ebirala ng' okutta abantu n'okubasiba mu makomera, ekibba ttaka bye bimu ku binyiiza abantu nga kati kirabika baagala nkyukakyuka''.
Abantu abasukka mu 100 battibwa mu kwekalakasa okwaliwo nga November 18 ne 19,2020 era Mayiga yagambye nti ebitundu bingi mu Buganda obwavu buwunya n'okubawunyako!
Katikkiro Mayiga yayongedde naawa eky'okulabirako ky'abantu b'e Busoga n'ebitundu ebirala abaawadde Kyagulanyi obululu wamu n'abo abali mu Ankole n'agamba nti bonna tasuubira nti okulonda Museveni mu maanyi, baakikoze lwa busosoze mu mawanga!
Mu kifo ky'okukulembeza ensonga y'amawanga ng'eyavuddeko NRM okuwangulwa mu Buganda,Mayiga yasabye obukulembeze bw'ekibiina kino okusala amagezi ku ngeri gyebayinza okugonjoolamu ensonga zino.