
ANNET Nambooze amanyiddwa nga Annatalia Oze olumaze okusuula akalulu ke n'ategeeza abantu nga bwagenda okubakulembera obulungi era n'abasaba okumulonda mu bungi.
Ono yesimbyewo ku kifo kya kansala omukyala akikirira ab'e Lubaga North ku lukiiko lwa KCCA era nga alondedde Kitunzi e Lungujja.
Wabula anakuwadde ku nsonga yabalonzi abatajumbidde nnyo kalulu kano era nategezza nti kiyinza okukosamu ku bululu bwabwe wabula ekinavaayo kyona akikwasiiza mukama kubanga tageera bikyamu......