
OKULONDA mu bitundu bye Lwengo kubadde kw'abitege nga ebifo ebironderwamu abalondesa babadde bakonkomalidde mu butebe bwabwe nga benyweera ku kacaayi olw'abalonzi obutajjumbira bulungi.
Eno abamu ku balonzi bakira bakuba oluboozi ku mbalaza zabwe nga eby'okulonda sibyebaliko ate abaleese eby'amaguzi byabwe bibabase nga tebalaba baguzi.
Ssentebe wa Lwengo George Mutabaazi gwe yawandako edduse okuvuganya ku kifo kya ssentebe wa Lwengo nga gwalabamu obusobozi era nga mukiseera kino y'amumyuka,Christopher Ssensalire akubye akalulu ke ku ssaawa 4:00 ez'okumakya ku kyalo Kyenvunikidde mu ggombolola ya Lwengo Rural.
Ono ategeezeza nti ebizibu ebiruma lwengo abimanyi bulungi nga n'ebimu ebiri mu ddiiro byebagenda okukola mu kisanja ekiggya singa awangula entebe eno y'akubunyisa amazzi amayonjo yonna gyegatanatuuka,okudabiriza amasomero ga SD SCHOOL kwossa n'okuzimba eddwaliro eddene mu Lwengo.
Wabula ensonga y'abalonzi okuba nga tebajjumbidde ajitadde ku bbugumu lyebalaga mu kulonda kw'ababaka omwali ensimbi empitirivu nga n'abamu abalonzi abaava mu bitundu bye Kampala badayo ekivudeko okulonda kuno okuzingama.
Bo abalonzi bakyogedeko bwe bati.
Ate akutte kaadi ya NUP ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti Joseph Balikudembe,akubye akalulu ke ku ssaawa 5:00 ezokumakya ku kyalo Bulemere mu ggombolola ye Kisekka ono agambye nti bwawangula wakusookera ku butale ng'ayambako abalimi n'abalunzi abasuse okukaaba amaziga.
Ye akutte kaadi ya NRM ku kifo ky'obwakansala omusajja anakiikirira lwengo tawuni kanso Nnyindo Mustapher ategeeza nti omuntu ng'alina kaadi ya NRM bwaba ng'awanguddwa mu kalulu buba bunafubwe so si bwakibiina.
Ate ajjidde ku kaadi ya JEEMA Nampijja Justine ku kifo kya kkansala omukyala owa Lwengo tawuni kanso ono asuubizza okutumbula ebitone by'abaana n'okukwasizaako abazadde ku baana babwe abettanira amasomo g'ebyemikono.
Mubuufu bwe bumu ekifo kya ssentebe wa Lwengo kivuganyizibwako abantu bataano okuli Ibrahim Kitatta akutte kaadi ya Nrm,Joseph Balikudembe owa NUP,Ssensalire Christopher atalina kibiina,Sadic Kanyonyi Mutebi naye atalina kibiina kwossa ne Musinguzi Emmanuel atalina kibiina kwajjidde.