TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba w'Abasodookisi anyumya engeri gye yasimattuse ssenyiga omukambwe

Omusumba w'Abasodookisi anyumya engeri gye yasimattuse ssenyiga omukambwe

Added 20th January 2021

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu n’obuvanyuba bwa Uganda.





Ono obulwadde bwamukwata wamu ne munne Fr. Constantine Mbonabingi ate nga muwereza munnaabwe omulala Fr. Emmanuel Ssekyewa yali amaze okufa obulwadde buno.

Embeera eno yawaliriza Ssaabasumba w'Abasodookisi Metropolitano Yonah Lwanga okuggala Eklesia 3 okuli St. Nicholas nga ky'ekitebe ekikulu ky'Abasodookisi mu ggwanga e Namungoona, St. Sophia e Kibuye ne St. Catherine e Vuumba mu Luweero era tewaali kusaba ku Ssekukkulu ya 2020.

Bp. Kisitu agamba nti abadde yeekuuma okwewala okukwatibwa obulwadde wabula yalabira awo ng'akwatiddwa.

Embeera gyayiseemu nga ajanjabwa aginyumya bwati: "Sisobola kumanya ssennyiga omukambwe gye yankwatamu kubanga mbadde nneekuumye n'okubeera omwegendereza.

Nasooka ne nfuna ekifuba ne kinnemerako kwe kusalawo okweyawula era nava ku kigo e Namungoona we mbeera ne henda mbeere nzekka n'okufuna obujjanjabi era nga simanyi nti ekirwadde kinnumbye ate nga nnina asima.

Embeera yeeyongera okutabuka ne nnemererwa okussa obulungi kwe kutegeeza ku bakadde bange n'abooluganda n'ebanzirusa mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi era eno abasawo gye batengeereza nti nnina ssennyiga omukambwe.

E Mulago namalayo ennaku bbiri zokka omusawo wange n'asaba ntwalibwe mu ddwaaliro eddala basobole okunkolako obulungi.

Olwantwala mu ddwaaliro eddala abasawo banteeka ku byuma ebiyamba okussa nga namalako ennaku nnya oluvannyuma ne banzigyako ng'embeera etereddemu era nga bino byonna bigenda mu maaso nga ndi mu kwegayirira n'okugulumiza Katonda.

Katonda yandagako obulumi n'embeera abantu ze bayitamu nga bakwatiddwa obulwadde buno kuba kubeera kugezesebwa kwennyini era awonye nga nze asaana okuyimba erinnya lya Mukama lisuutibwe.

Obulwadde buzibu tebuliiko myaka kuba abasinga babadde n'endowooza nti bukwata bakadde bokka naye kasita obaamu n'ekirwadde ekirala kyonna manya nti esaaawa yonna kijja kukukwata era tufube okukyewala nga tugoberera ebiragiro by'abasawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...