TOP

Bp. Kaggwa afudde corona

Added 21st January 2021

OMUSUMBA w'essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde ekirwadde kya corona. Fr. Ronald Mayanja omwogezi w'essaza ly'e Masaka yategeezezza Bukedde nti Omusumba Kaggwa yafiiridde mu ddwaaliro Ekkulu e Mulago Kampala eggulo akawungeezi.

Omugenzi Bp Kaggwa.

Omugenzi Bp Kaggwa.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

OMUSUMBA w'essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde ekirwadde kya corona. Fr. Ronald Mayanja omwogezi w'essaza ly'e Masaka yategeezezza Bukedde nti Omusumba Kaggwa yafiiridde mu ddwaaliro Ekkulu e Mulago Kampala eggulo akawungeezi.

Wabula Fr. Mayanja yagambye nti enteekateeka ezisingawo zaakufulumizibwa ekitebe kya Klezia e Nsambya okulambika okukungubaga n'okuziika. Omusumba Kaggwa abadde amaze ekiseera ku kitanda e Mulago ng'apooca n'ekirwadde kya corona okutuusa lwe kyamusse.

Omwaka 2016, Omusumab Kaggwa baamutwala mu Amerika ne bamulongoosa amaaso n'atereera n'akomawo e Uganda n'aweereza okutuusa lwe yawummula mu 2019 ne kuddako Omusumba Serverus Jjumba. Kaggwa yazaalibwa March 23, 1943 e Bulenga Wakiso mu Busiro afiiridde ku myaka 77.

Yafuna Obwafaaza mu December 1971, yatuuzibwa ku Busumba bw'e Masaka mu June 1995 ng'adda mu bigere by'Omusumba Adrian Kivumbi Ddungu. Omusumba Kaggwa ekiseera ky'abadde mu buweereza buno abadde teyeerya ntama ng'ayatulira bannabyabufuzi abakola ebinyigiriza abantu.

Omwaka gwa 2016 yawa abakulembeze ba munisipaali y'e Masaka wiiki emu nga bazibye ebinnya ebiri mu nguudo bwe batakikola yali waakukunga abantu beekalakaase mu mirembe. October 2020, Omusumba Kaggwa yabadde akulembeddemu Mmisa ku kiggwa ky'Abembogo e Mugulu Ssingo poliisi n'ebakubamu ttiyaggaasi n'ebagumbulula.

Omutaka Kasibante Kayiira Gajule yabadde yeebaza Katonda olwa Kabaka okumuwa onaanyizibwa nga ssentebe w'olukiiko lw'abataka n'aweereza. Poliisi n'amagye baasituse ne bagenda mu maka g'Omusumba Kaggwa e Kitovu Masaka ne bamwetondera era Asan Kasingye eyakulembedde banne yamukwasizza ekirabo kya masiki eriko akabonero ka poliisi.

Akoze emirimu mingi egikulaakulanya essaza ly'e Masaka; yatandika enkola ey'okugabira Abakristu ente era n'atandikawo MADDO Dairies Ltd. mu Nyendo yaddaabiriza Lutikko y'e Kitovu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...