TOP

Ngenze naye nkomawo - Trump

Added 21st January 2021

DONALD Trump 74, abadde Pulezidenti wa Amerika owa 45 oluvannyuma lw'okuteeka eggwanga eryo ku bunkenke okuva mu November w'omwaka oguwedde ng'awakanya ebyava mu kulonda nti baamubba, kyaddaaki entebe agivuddemu naye nga tagikwasizza amusikidde Joe Biden 78, mu butongole.

Donald Trump.

Donald Trump.

WASHINGTON, LWAKUSATU
DONALD Trump 74, abadde Pulezidenti wa Amerika owa 45 oluvannyuma lw'okuteeka eggwanga eryo ku bunkenke okuva mu November w'omwaka oguwedde ng'awakanya ebyava mu kulonda nti baamubba, kyaddaaki entebe agivuddemu naye nga tagikwasizza amusikidde Joe Biden 78, mu butongole.
Kyokka era abalese beebuuza ky'azzaako kubanga bw'abadde ayogera ng'asinziira ku kisaawe ky'amagye ekya Joint Base Andrews ekisangibwa e Maryland omulundi gwe ogusembayo nga Pulezidenti, yategeezezza nti, ‘ng'enze naye munninde nkomawo mu ngeri ey'enjawulo'. Trump teyalambuludde ngeri gy'agenda okuddiramu.
Nga bwakakya ku Lwokusatu Trump eyazira okwaniriza Biden (amusikidde) wadde okwetaba ku mukolo gw'okumulayiza yabadde alina okufuluma amaka g'Obwapulezidenti aga White House ku ssaawa 2:00 zennyini ennyonyi ‘Marine One' emutwale ku kisaawe kya Joint Base Andrews alinnye Air Force One emutuuse ku bbiici ye eya Malrago e Florida w'agenda okusooka okuwummulira.
Kyokka yagaanidde mu maka gano ng'abamulindiridde ebweru tebamanyi kigenda mu maaso nga kino kitegeeza n'emikolo gy'okulayiza Biden nagyo yabadde agittira obudde nga tegirina kubaawo mu kiseera kye kimu nga ne Trump (akyali Pulezidenti wa Amerika omujjuvu) akyalina emikolo gy'akola.
Wabula ku ssaawa 2:18 Trump eyabadde ayambadde essuuzi eya bbulu omukwafu n'ettaayi emmyuufu yavuddeyo ng'akaga ne mukyala we Melania Trump naye eyabadde mu biddugavu n'asiibula abaabadde bamulindiridde ebweru olwo ne balinnya ennyonyi ya Marine One ku ssaawa 2:27 nga bawerekerwako endala ey'amagye.
Ennyonyi eyamututte ewuwe yayingidde mu bwengula ku ssaawa 3:00 ez'okumakya n'eryolekera olugendo lwa mayiro 998.9. Yagenze bamukubira oluyimba lwa Paul Anka olwa ‘My Way' olusiibula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...