
Emisanvu abaserikale gye baatadde mu kkubo erigenda ewa Kyagulanyi ali mu katono.
Bya JOSEPH MAKUMBI NE MOSES NSUBUGA
POLIISI erabudde ababaka b'ekibiina kya NUP abakoze enteekateeka okutwalira mukama waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu ebintu eby'okukozesa awaka nti balina kusooka kufuna lukusa.

Ababaka ba palamenti abaayiseemu ku kaadi ya NUP, beekozeeemu omulimu nga bakulemberwa omwogezi w'ekibiina, Joel Ssenyonyi wabula oluvannyuma enteekateeka eno, baagiyimirizza ne bagyongezaayo olwaleero.
Mohammad Ssegiriinya, owa Kawempe North yagambye nti, okulonda kwa Mmeeya ne ba ssentebe ba disitulikiti okwabaddewo eggulo kwe kwabasazisizzaamu enteekateeka gye baabadde bakoze ne basalawo okugendayo olwaleero.
Yagambye nti, bajja kugenda ewa Kyagulanyi bagezeeko okulaba oba banakkirizibwa okuyingira okusinga okutuula nga mukama waabwe anyigirizibwa, talina kyakulya. "Liri si kkomera, gali maka ge, omusibe ne bw'abeera mu kkomera akkirizibwa okulaba abantu be," Ssegiriinya bwe yagambye.
NUP, yayisizzaamu ababaka 61 mu kulonda kwa bonna era Ssegiriinya yagambye nti, baabadde bakwataganidde wamu okuyamba ku Kyagulanyi okufuna ekyokulya n'abantu be. Okuva akalulu ka Pulezidenti lwe kaggwa ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, poliisi yaggalira Kyagulanyi mu maka ge nga tebamukkiriza kufuluma wadde okugenda ku kaduuka k'oku kyalo okugulawo ekindaazi.
"Okuva okulonda lwe kwaggwa kati ennaku musanvu, Pulezidenti waffe baamusibira waka talina mmere, talina bya kukozesa ate tebakkiriza muntu yenna kumukyalira. Poliisi yateeka emisanvu mu kkubo, twakirabye nga yeetaaga obuyambi bwaffe abali ebweru," omu ku babaka bwe yategeezezza ebisingawo n'ajuliza Ssenyonyi eyabadde akulembedde enteekateeka.
Poliisi n'ebitongole by'ebyokwerinda byateeka emisanvu mu kkubo erigenda ewa Kyagulanyi obutakkiriza muntu yenna kutuuka ku maka ge. Ku ntandikwa ya wiiki eno.
Waliwo akatambi akaafulumiziddwa ku mikutu gya yintanenti nga Barbie Itungo muka Kyagulanyi alaajana olw'abaserikale abaabadde bamunyiga amabeere bwe yabadde ayagala okufuluma okugenda okunona emmere. Yabadde ne bba abaserikale ne babalagira okudda munda nga bagamba nti, baabadde tebakkirizibwa kufuluma wabweru.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, Kyagulanyi akkirizibwa okulaba bannamateeka be n'abamu ku bantu ababa baagala okumulabako wabula ebiseera ebimu, abaagala okugenda ewa Kyagulanyi bagenda mu budde bukyamu nga waliwo ensonga z'ebyokwerinda ze bakolako.