TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa NUP e Nakaseke bamukeesezza akalulu: addukidde mu kkooti

Owa NUP e Nakaseke bamukeesezza akalulu: addukidde mu kkooti

Added 21st January 2021

MUNNAKIBIINA kya NUP Wiliam Musisi addukidde mu kkooti okusazaamu obuwanguzi bwa munnakibiina kya NRM, Koomu Ignatius Kiwanuka eyalangiriddwa ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y'e Nakaseke.

William Musisi addukidde mu kkooti.

William Musisi addukidde mu kkooti.

BYA WASSWA B. SSENTONGO.

MUNNAKIBIINA kya NUP Wiliam Musisi addukidde mu kkooti okusazaamu obuwanguzi bwa munnakibiina kya NRM, Koomu Ignatius Kiwanuka eyalangiriddwa ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y'e Nakaseke.

Musisi ategeezezza ng'akalulu bwe kataabadde k'amazima ng'ebitundu ebiwerako obululu bwabbiddwa nga n'emivuyo gyasusse.

Musisi ategeezezza ng'ebifo okuli: Kinyogogga, Kinoni, Ngoma Tc ne Ngoma Sub County mu Nakaseke North obululu bwasinze abalonzi obungi. Mu bifo ebironderwamu ebimu e Ngoma waliwo abaakwatiddwa n'obululu nga bamaze okubugolola era nga bakuumirwa ku poliisi y'e Ngoma.

Akulira ebyokulonda mu disitulikiti y'e Nakaseke, Hadijah Najjuka ategeezezza nti Musisi waddembe okugenda mu kkooti kuba ye yalangiridde omuwanguzi ng'asinziira ku ffoomu ezaamuweereddwa nga zino buli agenty w'oyo eyesimbyewo yabadde ataddeko omukono.

Musisi yakutte kyakusatu n'obululu 8,585 nga yawanguddwa Koomu n'obululu 29,774. Eyakutte ekyokubiri yafunye 8,865.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...