TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro Mayiga annyonnyodde ebyagobereddwa nga balonda mu Buganda

Katikkiro Mayiga annyonnyodde ebyagobereddwa nga balonda mu Buganda

Added 21st January 2021

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye baalonzeemu mu kalulu k'Obwapulezidenti n'ababaka ba Palamenti teyeesigamiziddwa ku mawanga wabula kyavudde ku bizibu enkumu ebifumbekedde mu kitundu kino.

Katikkiro Mayiga ng'alonda e Lweza.

Katikkiro Mayiga ng'alonda e Lweza.

Bya DICKSON KULUMBA                                                                                                                                     KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye baalonzeemu mu kalulu k'Obwapulezidenti n'ababaka ba Palamenti teyeesigamiziddwa ku mawanga wabula kyavudde ku bizibu enkumu ebifumbekedde mu kitundu kino.

Bino yabyogedde oluvannyuma lw'okulonda mu kifo ekiyitibwa Polio mu Lweza B mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y'e Wakiso eggulo n'agamba nti Buganda erina ebizibu bingi bye yayogeddeko ng'ebiyinza okuba nga bye byavuddeko abantu okulonda Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu.

"Ebyobulamu, ebyenjigiriza, obwavu, ebbula ly'emirimu, enguudo embi, obuli bw'enguzi. Naye era wabaddewo n'ebirala ng'okutta abantu, waliwo abattibwa mu November 2020, okuwamba abantu n'ebirala. Waliwo n'ebintu Obwakabaka bwebibanja ng'enkola y'okugabana obuyinza ne gavumenti eya wakati eya Federo."

Abantu abasukka 50 battibwa mu kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19, 2020 era Mayiga yagambye nti ebitundu bingi mu Buganda obwavu buwunya n'okuwunya! Katikkiro Mayiga yayongedde naawa eky'okulabirako ky'abantu b'e Busoga n'ebitundu ebirala abawadde Kyagulanyi obululu wamu n'abo abali mu Ankole be yagambye nti tasuubira nti okulonda Museveni mu maanyi, bakikoze lwa busosoze mu mawanga!

Yagambye nti mu kifo ky'okukulembeza okugamba nti ensonga y'amawanga ye yavuddeko NRM okuwangulwa mu Buganda, yamusabye okusala amagezi ku ngeri gyebayinza okugonjoolamu ensonga zino.

"Teri kitundu kisobola kulonda ng'abantu tebabeerera ddala mu bitundu ebyo ate emyaka mingi abantu mu Buganda bazze balonda abantu abatali Baganda mu bukulembeze ekintu ekitasangibwa mu bitundu bya Uganda birala noolwekyo neewuunya abo aboogera nti abantu ba Buganda basosoze era kyandibadde kirungi enjogera eyo bagikomye,"Katikkiro Mayiga bwe yawabudde.

Mayiga eyabadde ne mukyalawe Margaret Mayiga yayogedde ku bantu abatono abazze okwenyigira mu kulonda kwa gavumenti ez'ebitundu bwogeraageranya n'abo abajja mu bungi okulonda Pulezidenti n'ababaka ba Palamenti wiiki ewedde n'agamba nti kulaga engeri abantu gyebateeka obukulu ku buli ofiisi ya bukulembeze mu ggwanga.

Katikkiro Mayiga era yakubirizza abantu okujjumbira okulonda kw'emitendera emirala egisigaddeyo kubanga abakulembeze abo be babeera nabo mu bitundu byabwe noolwekyo balina omugaso munene.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...