TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba w'Abasodookisi anyumya engeri gye yasimattuse ssennyiga omukambwe

Omusumba w'Abasodookisi anyumya engeri gye yasimattuse ssennyiga omukambwe

Added 21st January 2021

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu n'obuvanyuba bwa Uganda. Ono obulwadde bwamukwata wamu ne munne Fr. Constantine Mbonabingi ate nga muwereza munnaabwe omulala Fr. Emmanuel Ssekyewa yali amaze okufa obulwadde buno.

Omusumba Kisitu.

Omusumba Kisitu.

Bya Eria Luyimbazi                                                                                                                                                           Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu n'obuvanyuba bwa Uganda. Ono obulwadde bwamukwata wamu ne munne Fr. Constantine Mbonabingi ate nga muwereza munnaabwe omulala Fr. Emmanuel Ssekyewa yali amaze okufa obulwadde buno.

Embeera eno yawaliriza Ssaabasumba w'Abasodookisi Metropolitano Yonah Lwanga okuggala Eklesia 3 okuli St. Nicholas nga ky'ekitebe ekikulu ky'Abasodookisi mu ggwanga e Namungoona, St. Sophia e Kibuye ne St. Catherine e Vuumba mu Luweero era tewaali kusaba ku Ssekukkulu ya 2020.

Bp. Kisitu agamba nti abadde yeekuuma okwewala okukwatibwa obulwadde wabula yalabira awo ng'akwatiddwa. Embeera gyayiseemu nga ajanjabwa aginyumya bwati: "Sisobola kumanya ssennyiga omukambwe gye yankwatamu kubanga mbadde nneekuumye n'okubeera omwegendereza.

Nasooka ne nfuna ekifuba ne kinnemerako kwe kusalawo okweyawula era nava ku kigo e Namungoona we mbeera ne henda mbeere nzekka n'okufuna obujjanjabi era nga simanyi nti ekirwadde kinnumbye ate nga nnina asima.

Embeera yeeyongera okutabuka ne nnemererwa okussa obulungi kwe kutegeeza ku bakadde bange n'abooluganda n'ebanzirusa mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi era eno abasawo gye batengeereza nti nnina ssennyiga omukambwe.

E Mulago namalayo ennaku bbiri zokka omusawo wange n'asaba ntwalibwe mu ddwaaliro eddala basobole okunkolako obulungi. Olwantwala mu ddwaaliro eddala abasawo banteeka ku byuma ebiyamba okussa nga namalako ennaku nnya oluvannyuma ne banzigyako ng'embeera etereddemu era nga bino byonna bigenda mu maaso nga ndi mu kwegayirira n'okugulumiza Katonda.

Katonda yandagako obulumi n'embeera abantu ze bayitamu nga bakwatiddwa obulwadde buno kuba kubeera kugezesebwa kwennyini era awonye nga nze asaana okuyimba erinnya lya Mukama lisuutibwe.

Obulwadde buzibu tebuliiko myaka kuba abasinga babadde n'endowooza nti bukwata bakadde bokka naye kasita obaamu n'ekirwadde ekirala kyonna manya nti esaaawa yonna kijja kukukwata era tufube okukyewala nga tugoberera ebiragiro by'abasawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...