TOP

Aba rugby beesika emiwula lwa Olympics

Added 21st January 2021

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Bya SILVANO KIBUUKA
Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi ogusooka, oluvannyuma lw'okulemererwa okuyitamu enfunda eziwera.
Ttiimu ey'abazannyi 15 eyayitiddwa okutandika okwetegekera empaka ez'okusunsula ezisembayo, yatandise na kubangulwa e Kapchorwa okumanyiira emisinde gy'oku nsozi, oluvannyuma abazannyi ne beegatta mu kutendekebwa mu kiraabu zaabwe.
Maneja wa Rugby Cranes, Mike Wendera yagambye nti ttiimu eddamu okubangulirwa awamu ku Mmande (January 25) ku kisaawe kya Kyadondo e Lugogo, okufuna abazannyi 12 abagenda okuvuganya mu mpaka za ‘Repacharge' mu kibuga Monaco mu Bufalansa (June 19-20).
"Amawanga 12 gagenda kuvuganyiza ekifo kimu kyokka ekisigaddewo. Amawanga agaalemererwa ku Ssemazinga zonna ge gagenda okuvuganya mu mpaka zino ez'abazannyi omusanvu era tutandise mangu okubangula ttiimu eno wakati mu kwerinda ekirwadde kya corona," Wandera bwe yannyonnyodde.
Okutuuka okuzannya mu mpaka zino, Uganda yasooka kulemwa kuyitamu butereevu bwe yakubwa Kenya ku fayinolo ya Afrika eyali mu South Afrika.
Uganda yatandika ez'okuvuganya n'abaawangulwa ku Ssemazinga endala, n'ekola bulungi mu mpaka ezaali e Chile ne Uruguay mu 2019 ne yeesogga oluzannya olusembayo. Luno lwali lwakubaawo mu May omwaka oguwedde ne zongezebwayo olwa corona.
Agamu ku mawanga Uganda g'egenda okuttunka nago mulimu, Bufalansa (abategesi), Japan (abategeka Olympics), Zimbabwe, Hong Kong, Samoa, Tonga, ne Ireland.
Ttiimu eno, ebangulwa omutendesi, Tolbert Onyango, erimu abazannyi okuli, Mike Okorach, Aaron Ofoywroth, Edrian Kasito, Earn Munyai, Byron Oketayot, Solomon Okia, Phillip Wokorach, Levis Ocen, Nobert Okeny, Desire Ayera, William Nkore, Alex Aturinda, Joseph Orado, Isaac Masanganzira ne Pius Ogena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...