TOP

Magogo okusigala mu ntebe ya FUFA guba mululu

Added 21st January 2021

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye alage bannamupiira omukungu gw'asuubira okulekera entebe atandike okwetunda mu bakiise.

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye alage bannamupiira omukungu gw'asuubira okulekera entebe atandike okwetunda mu bakiise.
Okuyitamu kwa Magogo kwatuukirizza olugero lwa 'onsuulidde omwoyo nga olukuttira akuloga', kubanga nnali nakiwandiikako dda nti bw'ayitamu entebe ya FUFA agirekere emisingi gye yeenyumirizaamu okusinga be yaddira mu bigere. Kye kiseera Magogo okukakasa nti wadde taliiwo, emirimu gya FUFA waliwo abasobola okugitambuza.
Wadde tewali tteeka liyinza kwanguya Magogo kusalawo ku nsonga za FUFA, bw'atakikola ajja kuba alaze omululu gw'obukulembeze, by'abadde agamba nti azimbye abakulembeze bitankanibwe, kw'ossa okuswaza Dr Lawrence Mulindwa, eyamulonda mu 'ttiimu' ye amuddire mu bigere.
Nga abadde awagira Magogo ne bannabyamizannyo bonna okuyitamu mu bifo bye beesimbyemu basobole okuyamba emizannyo okukulaakulana, nja kusanyuka ng'akoze Mulindwa kye yamukolera, ate nsaba wabeerewo okuvuganya ne bannamupiira abalala abatali mu FUFA abandyagadde okwesimbawo.
Ekirala Magogo ky'aba asinga okutunuulira oluvannyuma lw'okutuusa Uganda mu AFCON ez'omuddirihhanwa, ne ttiimu eza U17 ne U20 okukola obulungi, anaaba n'obudde nga bwabadde nabwo, okutuusa Uganda mu World Cup?
Bannamupiira bakooye CECAFA, era okuggyako ng'ekisigaza Magogo mu FUFA kulwana kuwangula kikopo kya CHAN, AFCON, n'okutwala Uganda mu World Cup, entebe asaanye agyenenye. Bw'aba alemeddwa okuzuula omukungu omutuufu anaasobola okutambuza FUFA nga bw'abadde akola, obuyinza abuzzeeyo ewa Dr Mulindwa gye yabuggya, tufune omukulembeze anaagatta bannamupiira kubanga bangi tebakyalina nkolagana.
Ku mulundi guno, ssaagala pulezidenti wa FUFA kuyitamu nga tavuganyiziddwa nga bwe gwali ku Mulindwa ne Magogo, kubanga kitta demokulasi eyaliwo okuva mu 1924 ekibiina kya Uganda Football Association kati FUFA lwe kyatandikibwawo.
Magogo bw'aba alina omukungu gw'azimbye amulage ensi y'omupiira, wabula akkirize avuganyizibwe (munda mu FUFA oba wabweru waayo), kubanga nayo eriyo abalina obusobozi, oluvannyuma lw'okuweereza omupiira mu bifo eby'enjawulo.
Omupiira gwa Uganda gwetaaga omukulembeze agenda okugatta bannamupiira sso si kubaawula nga bwe guli kati, ng'abali mu FUFA balowooza nti be bokka abagukoleredde, sso nga waliwo n'abalala abaagukolerera obulamu bwabwe bwonna, abali mu FUFA we baagusangira.
Ng'oggyeeko ttiimu z'eggwanga ezikola obulungi, liigi ya UPL ekyabulamu ensimbi. Kyewuunyisa omuwanguzi okubeera ng'afuna obukadde 60 kyokka nga nazo za bulumi. Big League nayo bwetyo, sso nga n'ekikopo kya Uganda Cup nakyo kiserebye, nga singa tewabaawo kikolebwa ekitiibwa kyakyo kyandifuuka olufumo.
FUFA okutunuulira ttiimu z'eggwanga nga wansi tetunulayo kizza mupiira mabega, era wano we njagalira okuvuganya okw'amaanyi eri abaagala entebe ya pulezidenti waayo, kuba wayinza okuvaayo atuwa manifesito ya liigi ng'ezitowa, okugeza, singa wavaayo agamba nti kyampiyoni wa liigi waakumuwa obukadde 500, owa Uganda Cup (400), n'ebirala, oyo siyinza butamuwagira.
Ensimbi ez'omuzinzi nga zino ziba zijja kuyamba kiraabu okukuuma n'okugula abazannyi abalungi, okwetegekera empaka za CAF obulungi, okuzimba amatabi g'abawagizi, okulowooza ku bisaawe, n'ebirala.
Bw'eba nga bajeti ya FUFA esussa obuwumbi 30 ate nga y'evunaanyizibwa ku liigi y'eggwanga, lwaki omuwanguzi akyafuna obukadde 60, ezitakyalina kye ziyinza kukyusa mu mupiira, era obunafu buno bweyolekedde nnyo mu mpaka za CAF.
Omuko guno nguwaddeyo eri Dr Mulindwa eyavumbula Magogo n'atuusa okuzza Uganda mu AFCON gye yali yakoma okubeera mu 1978. Ekikolwa kino kye njagala ne Magogo akole kuba tewali kiyinza kumulemesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...