TOP

Owa NUP eyattibwa aziikiddwa

Added 22nd January 2021

ABANTU bangi beetabye mu kuziika omuvubuka Rogers Ssemakula 25, eyali ow’ekibiina kya NUP, eyabuzibwaawo abantu abataategeerekeka olw’ensonga ezigambibwa nti za byabufuzi. Ono yazuuliddwa ku Lwokubiri lwa wiiki eno mu kibira ekimu mu disitulikiti y’e Mukono ng’attiddwa nga n’omulambo gwe guli bukunya.

Abavubuka nga beetisse omulabo gwa munnaabwe okugwetoolooza tawuni y’e Kiyunga.

Abavubuka nga beetisse omulabo gwa munnaabwe okugwetoolooza tawuni y’e Kiyunga.

ABANTU bangi beetabye mu kuziika omuvubuka Rogers Ssemakula 25, eyali ow'ekibiina kya NUP, eyabuzibwaawo abantu abataategeerekeka olw'ensonga ezigambibwa nti za byabufuzi. Ono yazuuliddwa ku Lwokubiri lwa wiiki eno mu kibira ekimu mu disitulikiti y'e Mukono ng'attiddwa nga n'omulambo gwe guli bukunya.

Okusinziira ku nnamwandu Salfa Namuddu eyabadde mu maziga, "Omwami wange twayawukana naye bulungi ku makya g'Olwokuna n'agenda mu nnimiro okupanga bbulooka ze nze ne ngenda okulonda olw'ensonga nti ye yali teyeewandiisa era nga talina densite. Omusajja andekedde abaana abato kyokka y'abadde atulabirira mu buli kimu.

Nsaba poliisi enoonyereze ku nfa ya baze n'engeri gye yattiddwaamu nfune obwenkanya,"Namuddu bwe yagambye. Ye maama w'omugenzi Aisha Nannozi yategeezezza nga bwe baludde nga banoonya omuntu waabwe era waliwo omukyala ku kyalo ky'e Kayunga, eyamutuukiridde n'amugamba ng'ennaku ezimu bw'abadde asuza mutabani we nga yeekweka abantu abamunoonya okumutuusaako obulabe.

"Mutabani wange ennaku ezimu abadde tasula mu maka ge ng'atya olw'abantu ababadde bamugoberera naye nga tamanyi nsonga lwaki bamuwondera okutuusa lwe baamukutte ne bamuttira mu kibira gye baamusanze ng'ali bukunya. Nsaba poliisi etuyambe enoonyereze ku butemu buno,"Nannozi bwe yasabye.

Rev. David Mukooza omusumba w'obusumba bw'e Kiyunga eyakulembeddemu okusabira omwoyo gw'omugenzi yavumiridde ebikolwa eby'okutulugunya n'okutta abantu ebigenda mu maaso mu ggwanga kyokka gavumenti n'etabaako ky'ekola kugonjoola nsonga eno era n'asaba abantu okufuna entiisa ya Mukama Katonda okwewala okukola ebikolwa nga bino ku bantu bannaabwe olw'ensonga nti ffenna ekkubo lye limu lya kufa.

Abamu ku mikwano gy'omugenzi baasitudde omulambo gwa munnaabwe ne bagwetoolooza tawuni y'e Kiyunga nga balaga obutali bumativu olw'okuttibwa kwe ne bategeeza nga bwe batagenda kuwummula okutuusa nga n'abalala abakyabuze babazudde. Ono oluvanyuma yaziikiddwa ku kyalo Kiyunga ekisangibwa mu disitulikiti y'e Mukono nga yalese namwandu n'abaana abalenzi babiri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ali Kalungi eyali RDC we Otuke, Rev. Peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa LCV omulonde ne RDC Fatumah Ndisaba Nabitaka mu lutuula lwa  kanso y'e Mukono.

Mukono bayisizza ekiteeso N...

Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula...

Abaana nga basena amazzi amacaafu.

Ab'e Rakai amazzi ge banywa...

Abatuuze mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Ddwaaniro ne Kagamba mu Ssaza ly’e Buyamba mu disitulikiti y’e...

Omusajja ng'alaga ebintu ebyasangiddwayo.

Ab'e Nateete beemulugunya k...

Abatuuze b’e Nateete baddukidde ku poliisi ne bagisaba ekwatagane n’ekitongole kya KCCA okulaba nga bamenyawo ebiyumba...

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...