SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza enkola ya Federo mu Uganda nga bwekiri mu massaza g'Eklezia Katolika.
Dr.Lwanga bino yabyogeredde mu mmisa y'okusabira omwoyo gweyali omusumba w'e Masaka John Baptist Kaggwa. Yagambye nti gavumenti yandibadde etwala eky'okulabirako ky'amassaza g'Eklezia agaweebwa obuyinza okwekolera ku nsonga zango awatali kwebuza ku lukiiko lw'Abasumba olw'okuntiiko nga kino kiyambye nnyo mu nkulakulna n'okunyweza obumu.
Wabula ono agamba nti Pulezidenti okusoosoowaza enkola y'okusaba Federo ya East Africa ye alowooza nti ono yandisoose kulowooza ku kuwa Bannayuganda Federo, ng'emu ku ngeri y'okumalawo embeera y'obusosoze mu mawanga gyagamba nti etabudde nnyo abantu ne badda mu kunenengana. Yagambye nti enkola ya Federo nnungi kubanga ewa abantu omukisa okwekolera ku bizibu byabwe.
Yakulisizza Pulezidenti Museveni n'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo olw'okutuuka ku buwanguzi era nasaba bonna abatasobodde kuyitamu obutaterebuka n'okumanya nti eno siyenkomero kyokka bafube okulaba nga bakolaganira wamu n'abo abayisemu.Yakubidde abakulembeze omulanga okusoosowaza obuweereza eri abantu n'okukulembeze ensonga ezibakwatako ng'okulwanyisa obwavu, ebbula ly'emirimu n'okulwanyisa enguzi.
Dr.Lwanga yakubidde Bannabyabufuuzi omulanga okusonyiwagana n'okulekerawo okuvumagana nagamba nti ebikolwa bino tebireeta mirembe wabula okwawulayawula mu bantu.
‘'Pulezidenti Museveni banno basonyiwe ate oleme okubavuma okuvuma kibi era tekituwa mirembe, Bobi Wine nawe sonyiwa ,olulimi olubi n'okuvumagana tebireeta mirembe wabula endwadde ne Puleesa, ssebo Tumukunde banno basonyiwe ate obasonyire ddaala, nange nsonyiwa mwenna abankola obubi,n'abampandikako eby'obulimba.''Dr.Lwanga bwe yategeezezza
Yasabye buli muntu okukolera amazima n'okwogera amazima. Kyokka Gen.Henry Tumukunde omu ku bawangulwa ku kifo ky'obwa pulezidenti nga y'omu ku beetabye mu mmisa y'okusiibula Omusumba Kaggwa e Lubaga yagambye nti eby'okusonyiwagana bali mu kubikubaganyako birowoozo ne banne era ekiseera bwe kinaaba kituuse bajja kuvaayo batangaze eggwanga.
Yayogedde ku musumba Kaggwa ng'abadde eddoboozi lyabantu lyabatalina bwogerero ng'ayogera amazima.
Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda asooka Robert Waggwa Nsibirwa eyasomye obubaka bwa Katikkiro wa Buganda yayogedde ku Musumba Kaggwa ng'abadde omuntu akumakuma abantu, ayagala ennyo ekika ky'Embogo era ng'abadde omusaale ennyo mu kulaakulanya abantu.
Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebyawaggulu J.C.Muyingo eyakiikiridde gavumenti yayogedde ku musumba Kaggwa ng'abadde omuntu ow'empisa, omukozi, ayagala ensi ye n'abantu awatali kusosola.Yagambye nti ono agende mu kiseera eggwanga weribadde limwetagira ennyo okulungamya Bannabyabufuzi era n'asaba abawangudde nabawanguddwa mu kalulu nabayisemu okusonyiwagana ate n'okwongera okwerinda ekirwadde kya Covid19..
Mmiisa yetabiddwamu abakulembeze ku mitendera egyenjawulo abooluganda n'emikwano