TOP

'Siri mwangu buli ankubyeeko ajja kukyejjusa"

Added 22nd January 2021

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo nga bw'alabula buli amukozeeko effujjo nga bw'ali enzaalwa y'e Bukunja era bajja kumubendegera.

Edward Kisekka 21, yajjidde mu ttakisi eyamutadde mu Kampala we yasanze omuvuzi wa bodaboda Julius Alitwijuka n'amulagira okusasula owa ttakisi 13,000/- ng'amusuubizza okuzimuwa. Yalinnye bodaboda n'amuvuga okumutuusa ku Kaleerwe nga balagaanye 5,000/-. Kyokka bwe yamutuusizza ne yeefuula akuba essimu.

Owa bodaboda bwe yalabye amulwisa, n'amutaayiza era baagenze okukebera essimu gy'akuba nga kyakuzannyisa ky'abaana. Abantu baamutabukidde ne batandika okumukuba kyokka nga bw'awera nti si mwangu buli amukubyeko ajja kukyejjusa. Yatwaliddwa ku poliisi y'oku Kaleerwe ng'owa boda agamba nti ssente ze azaagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...