
OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga mu kulonda kwa bassentebe okwabaddewo ku Lwokusatu. Bano baabakwatidde Buwaggajjo mu divizoni y'e Nyenga. Baabadde baagenti ba Jimmy Kanabi eyavuganyizza ne Mathias Kigongo, Anthony Mukasa ne Maj. David Kibirango ku kifo kino. Kanabi yagambye nti yagenze ku poliisi okumanya ekyatuuse ku bantu be kyokka ne bamugaana okubalaba. Bukedde yagezezzaako okutuukirira omwogezi wa poliisi mu Ssezibwa, Robert Kalyesubula ku ssimu ng'essimu tagikwata