
GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati bwe nnina ng'omubaka wa Kakuuto myuziki hhenda mukendeezaako nsobole okufuna obudde obumala obwa palamenti okuteeseza abantu bange ate n'okubeera nabo e Kakuuto. Embeera ebaddewo nga kumpi buli lunaku mbeera ku siteegi mu bivvulu tegenda kubeerawo naye kino tekitegeeza nti sikyayimba mu bivvulu.
Ng'omuyimbi era anyigirizibwa olw'embeera gye tukoleramu hhenda kufuba okulaba nga etteeka lya ‘Copy Right Law' liddamu okukolebwako ennongoosereza kuba wadde lyayisibwa naye ebibonerezo Essira nja kulissa ku biruma abalonzi bange ebyassibwawo biwa omwagaanya abantu abalala okugenda mu maaso nga balimenya kati kye twetaaga bye bibonerezo ebikakali olwo abayimbi basobole okufuna mu myuziki waabwe.
Bwe yabuuziddwa oba agenda kusoosowaza nnyo ensonga z'abayimbi mu Palamenti ne ky'asuubira okutandikirako, ono yazzeemu nti "Ndi musajja ayogera amazima era ssaagala muntu agambe nti Lutaaya agenze mu Palamenti kuteekayo nsonga za kisaawe kya kuyimba.
Ensonga eziruma abantu b'e Kakuuto ze hhenda okusinga okuteekako essira kuba be bantu abanjiiriddewo omubiri (abalonzi). Mu kalulu ke mbaddemu abayimbi babadde batono nnyo abanjiiriddewo omubiri kale wadde ensiike y'okuyimba enkwatako naye ate sisobola kuva ku mulamwa omukulu ogw'abalonzi bange.