TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro Mayiga akunze abantu okuwandiika ebitabo by'Oluganda

Katikkiro Mayiga akunze abantu okuwandiika ebitabo by'Oluganda

Added 23rd January 2021

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubirizza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda nga kino kyakuyamba okuteekerateekera Obwakabaka eky’obugagga eky’omuwendo.

Okwogera bino yabadde ku mukolo kweyatongolezza ekitabo ekiyitibwa OMUGANDA KIKA nga kyawandiikiddwa Minisita w'ennono,obuwwangwa n'obulambuzi mu Buganda,David Kyewalabye Male n'agamba nti ebitabo ebiri mu lulimi OLUGANDA bikyali bitono nga kyetaaga buli omu awandiike.

"Ebitabo by'Oluganda bitono nnyo byetulinawo kale buli awandiika ekitabo ky'Oluganda abeera atuyambye okuteekerateekera eky'obugagga. Bwetuwandiika ate netusoma,tujja kuba tutandise ku lugendo olututwala ku nkulakulana kuba tujja kuba tugaziya endaba y'ebintu ebijja okutuyamba okwezimba,"Mayiga bweyawabudde.

Katikkiro Mayiga yayongedde n'ategeza nga bwekijja okutubeerera ekizibu okukulakulana okwenkana amawanga g'abazungu okuggyako ffe ffenyinni twewandiikidde ebintu byaffe n'agamba nti okuwandiika ku kubeera kunyweza empagi ewaniridde Buganda.

Omukubirizza w'olukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika mu Buganda,Omutaka Augustine Mutumba Namwama yategezzza nga kino ekikoleddwa kyakuyamba okwongera okunyweza ebika ate nabyo binyweze Nnamulondo bwatyo neeyebaza Kyewalabye olw'okwongera okugaziya ekyoto abantu kwebayigira.

Namwama yasabye ekitabo kino eky'emiko 322 kiteekebwe ku yintaneti n'abatali mu Uganda basobole okukisomera yonna gyebali mu bitundu by'ensi.

Ye Omuwandiisi Kyewalabye Male  yategezezza ng'omulimu guno bwegumutwalidde emyaka musanvu kuba gubaddemu okunoonyereza kungi okukwata ku bika era neyeebaza bonna abaguze ekitabo kino.

Mu baaguze ekitabo kino kuliko akulira Vision Group,Robert Kabushenga nga yaguze ebitabo 20 byeyategezezza nti byakweyambisibwa aba Bukedde Famire mu kusomesa abantu ku bikwataku bika byaabwe.

Omukolo gwetabiddwako abantu ab'ebiti ebiwerako okuli Omumbejja Joan Nassolo,Baminisita b'Obwakabaka,abaami b'amasaza,Bannalotale,abakungu mu bitongole eby'enjawulo n'abalala bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...

Abayizi baakukola ebibuuzo ...

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, si kyakusazaamu lunaku lwa Mmande enkya olw'abakyala mu nsi yonna okuwummula,...

RDC Kalema ng’ali n’omumyuka w’akulira essomero lya Budde UMEA e Butambala.

Amasomero ga gavumenti gafu...

OMUBAKA wa gavumenti mu Butambala akoze ebikwekweto mu masomero ag'enjawulo okufuuza abatagondera mateeka ga corona...

Abatunda ennyama y’enkoko mu kkiro ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.

Okusuubula enkoko n'ozonger...

OKUSUUBULA enkoko z'ennyama bw'ozongerako omutindo ofunamu ekisingako ku kye wandifunye. Kino kizingiramu okusuubula...

Ku kkono; Gerald Siranda (DP), Jimmy Akena (UPC), Pulezidenti Museveni ssentebe wa NRM (wakati),Nobert Mao (DP) , Kasule Lumumba (NRM) ne Frank Rusa akulira IPOD.

▶️ Museveni akkirizza okuyi...

PULEZIDENTI Museveni alagidde okuyimbula abamu ku basibe 51 abaakwatibwa ku nsonga z'okugezaako okutabangula emirembe...