
Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya Baba Fm era nga kazannyirizzi mu kibiina kya Swengere. Era y'omu eyawangudde ekifo kya Meeya w'ekibuga Jinja asoose bukya kibuga ekyo kisuumuusibwa ku ddaala lya City.
Abalala abayimbuddwa kubadde Sirina Kyakuwaire nga ono musunsuzi w'amawulire ku laadiyo ya Baba Fm era nga ye yawangudde ekifo kya kansala omukyala owa Jinja North Division Central ne muganda we Nashim Naigaga agasakira leediyo ya NBS Fm e Iganga, sipiika w'olukiiko lw'ekibuga Jinja Moses Mourison Bizitu saako n'abalala.
Meeya omulonde Kasolo, Kyakuwaire, Naigaga, Sipiika Bizutu saako n'abawagizi baabwe abasoba mu 30 baabakwatidde mu kabuga k'e Mafubira nga baddayo eka nga bavunanibwa okutambula mu ssaawa za kafiyu kyokka nga baabadde baakamala okulangilira Kasolo ne Siriina ku bifo bye baawangudde.
Kasolo ategeezezza nti baabakutte ku ssaawa 9:30 ez'ekiro ne babasibira ku Poliisi y'e Mafubira era abamu ku mikwano gyabwe be baakedde ku Poliisi ne baweebwa Police bond ne bateebwa bonna.
Kasolo yalangiriddwa kubwa Meeya nga yafunye obululu 11,899 n'addilirwa Frank Nabwiso owa FDC n'obululu 10,398 ate Robert Kanusu owa NRM nga ono yaliko munnamawulire wa Vision Group n'akwata eky'okusatu n'obululu 9,810. Okubala obululu kwatutte ennaku bbiri.
Mungeri y'emu Poliisi etadde Swengere aweereza pulogulaamu ya Ekibbiitu ku Baba Fm saako ne munnamawulire omulala Richard Mutoigo agasakira Baba Fm nabo be baawadde Police bond.
Swengere ne Mutoigo baakwatiddwa ku Lwokuna bwe baabadde baweerezza amawulire ku leediyo ne baavunaanibwa ogw'okukuma mu bantu omuliro n'okulangirira omuwanguzi ng'okubala obululu kukyagenda mu maaso.
Abakwate okwabadde; Kyakuwaire, Naigaga, sipiika Bizitu nabo bavumiridde ekikolwa kya Poliisi okubaggalira mu bukyamu newankubadde nga beefubyeko okwennyonnyolako n'okubalaga ebiboogerako.
Swengere ne Mutoigo bakira basinda ennaku gye balabidde mu kaduukulu ka Poliisi y'e Nalufenya.