
BYA JAMES MAGALA
Abantu bakira bayaayana okuyingira ambuleera okusembera nga era obwama bakira buyitingana.
Mu kusaba kuno okwabaddewo eggulo ku Lwokutaano omubiri gw'omugenzi Bishop Kaggwa tegwaleeteddwa olw'okubanga omugenzi yafudde kirwadde kya Covid-19 era nga baasabidde kifaananyi kye.
Mmisa yakulembeddwa Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga nga yeetabiddwamu ebikonge okuva mu Gavumenti ya wakati ne Mengo wamu ne bannabyabufuzi ab'enjawulo.