
Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.
Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira okuva mu bawagizi b'ekibiina kya NUP.
Bakaluba yalangiriddwa ku Lwokuna akawungeezi ku buwanguzi, akulira eby'okulonda mu disitulikiti y'e Mukono, Mark Muganzi Mayanja. Bakaluba yafunye obululu 73,815 olwo ate eyamuddiridde munnakibiina kya NRM, Al-haji Haruna Ssemakula n'afuna obululu 25,202.
Abadde ssentebe wa disitulikiti nga yeesimbawo nga talina kibiina oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kamyufu ka NRM, Andrew Ssenyonga yafunye obululu, 4,876, Godfrey Kiregga Musisi owa DP yafunye 1,681, Peter Nsubuga 1,008 ne Nicholas Munyagwa 583.
Bakaluba era alina bakkansala bangi ab'ekibiina kya NUP abaawangudde ebifo eby'obwakkansala okugeza ku ba NRM abalinga bakkansala 7 omugatte okuli n'abaayitamu nga tebavuganyiziddwa.
Nambooze oluvannyuma lwa Bakaluba okulangirirwa yategeezezza nti obuwanguzi buno buvudde ku kuba nti ye ne Bakaluba baziika obukulu n'empalana buli omu gye yalina ku munne okumala emyaka 18 ne basalawo okubangawo enkolagana esobodde okutwala mu maaso ekibiina ekito ekya NUP mu disitulikiti y'e Mukono yonna.
"Njagala nze ne Bakaluba tubeere eky'okulabirako nti abantu basobola okusonyiwagana ne bamala ne baddamu okutambulira awamu era ne babeerako bye batuukako. Nze we nayawukanira ne Bakaluba muwala wange yali muwere naye kati ali mu S.6 era aweza emyaka 18 n'okulonda yalonze, ekyo ggwe kikulaga ki?" Nambooze bwe yabuuzizza.
Wabula Nambooze yasabye abalondeddwa ku kaadi ya NUP mu bungi okufuba okulaba nga baweereza abantu nga bwe kisaanidde abantu baleme kujulirira na kwejjusa.
Bakaluba yasuubizza okuteekawo obukulembeze obw'enjawulo n'agamba nti agenda kufaayo okulaba ng'ebizibu ebiruma abantu omuli ebbula ly'amazzi, enguudo embi, emigga egyawagulukuka n'ebirala nga bikolebwako amangu ddala nga ky'aggye atuule mu ntebe.