
Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations
Mu kusaba kwe yasooka kusaba bannaddiini na buli mukulembeze waali okusabira ennyo eggwanga Uganda eryali linaatera okutandika okulonda abakulembeze olw'omuyaga gw'ebyobufuzi ogwali gutandise.
Yalagula okubaawo omusaayi oguyiika olw'obutakkaanya mu nzikiriza z'ebyobufuzi kyokka wadde yali yabiragula okubeerawo naye n'ategeeza nti Pulezidenti Museveni yali waakudda mu bukulembeze, ekyatuukiridde.
Oluvannyuma Omusumba Tumusiime ng'ali mu maaso g'abantu be yali asumba yategeeza nti yabikkulirwa nga Pulezidenti Trump yali waakubeera nnyo mu byafaayo bya Amerika kubanga yali waakufuga ekisanja kimu kyoka ekitaali kya bulijjo mu ggwanga eryo.
Yayongera n'ategeeza nti Joe Biden yali waakumutawaanya nnyo era yali waakujja okumwesimbako ku kifo ky'omukulembeze ate amuwangule.
Yasaba abawagizi ba Pulezidenti Trump okumusabira ennyo olw'okusomoozebwa kwe yali atandise okufuna mu bukulembeze bwe n'alabula nti singa Katonda tamuwandako ddusu okufuna ekisanja ekyokubiri mu ggwanga lya Amerika kijja kubeera lufumo nakyo ne kituukirira.
Yasabye ba Minisita abaawanguddwa mu kalulu obutanyiiga na kulekulira bibiina byabakubizza wabula bakolere wamu n'abawangudde mu kukulaakulanya ebitundu byabwe basobole okufuna omukisa okuyitamu ku bisanja ebijja.