
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga n'abakungu be gattako ebikonge mu Gavumenti eya wakati abeetabye mu kitambiro kya Missa eyokusabira omwoyo gw'omugenzi Bisopu John Baptist Kaggwa n'okumuziika nga kukulembeddwa Omusumba Serverus Jjumba amutenderezza obukakkamu n'obwetowaze bwe.