
Bp. Zziwa ng'ayogera mu kusabira omwoyo gw'omugenzi
Bp Zziwa ajulizza akatabo omuli ebbaluwa y'ebyo ebyakkanyizibwako ng'olukiiko lw'Abeepisikoopi bonna mu Uganda nti era okulung'amnya okwo baakukola n'okulonda tekunnabaawo.

Alaze abakungubazi abeetabye mu kuziika omusumba eyawummula, John Baptist Kaggwa e Bukalasa mu Kalungu akatabo kano n'akkaatirizza nti singa ebikawandiikiddwamu binaagobererwa mu butuufu bwabyo bijja kuyamba nnyo abakulembeze mu kutebenkeza eggwanga.
Bp Zziwa akkaatirizza nti bali mu ttuluba lye limu n'ebyogeddwa ku musumba Kaggwa 'obuterya ntama' n'agamba nti bannaddiini baliwo ng'eddoboozi ly'abasobola kweyogerera ng'okwogera ku bitatambudde bulungi tekibafuula balabe ba Gavumenti eri mu buyinza.

Asuubizza okubunyisa obutabo buno mu ofiisi ez'enjawulo mu Paalamenti n'awalala n'asaba abakulembeze babisome n'obwegendereza ku lw'obulungi bw'eggwanga lyattu Uganda.
Bya Ssennabulya Baagalayina