TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa poliisi akubye omutuuze amasasi agamuttiddewo

Owa poliisi akubye omutuuze amasasi agamuttiddewo

Added 24th January 2021

Abatuuze nga bakungubagira munnaabwe Nsejje eyattiddwa Agaba omusirikale wa poliisi.  (Ekif.  Henry Nsubuga)

Abatuuze nga bakungubagira munnaabwe Nsejje eyattiddwa Agaba omusirikale wa poliisi. (Ekif. Henry Nsubuga)

Abatuuze n'abasuubuzi mu kabuga k'e Kebembe mu ggombolola y'e Kyampisi mu disitulikiti y'e Mukono baaguddemu enkyukwe omurikale wa poliisi bwe yavudde mu buntu n'akuba munnaabwe essasi eryamuttiddewo.

Ekikangabwa kino kyaliwo mu kiro ekyakeesa Olwomukaaga ssaawa nga 3:00 abasirikale basatu bwe batuuka mu Kabembe ne balagira abatuuze okuzingako ebyamaguzi byabwe baggalawo bade ewaabwe kuba obudde bwa kakiyu bwali butuuse.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire omusirikale eyakubye omutuuze Rajab Nsejje essasi eryamjuttiddewo ye Gerald Agaba okuva ku poliisi y'e Nkonge eri wansi wa divizoni ya poliisi ey'e Naggalama.

Owoyesigyire yagambye nti Agaba ng'ali n'abapoliisi abali ku ddaala lya SPC abalala babiri baagenze e Kabembe ng'obudde bwa kafiyu butuuse kyokka bwe baalagidde abatuuze okuzingako bbizinensi zaabwe baggalewo bade ewaabwe abamu kwe kutandika okubavuma.

"Omu ku batuuze abavuddeko olutalo yategeerekese nga Nsubuga ng'atunda ngoye nkadde, ono yatandise okuvuma abasirikale ekyanyiizizza Agaba n'akuba essasi eryasse Nsejje ne lirumya ne banne ababiri bwe baabadde okuli Jimmy Osubo ne Moses Mubiru ng'omu yafunye ebisago ku mukono omulala n'alumizibwa ku kugulu," Owoyesigyire bwe yannyonnyodde.

Nsejje ow'emyaka 23 abadde akola gwakusiika chapati mu Kabembe.

Owoyesigyire yategeezezza nti Agaba yakwatiddwa n'atwalibwa ku poliisi e Naggalama sso nga ggwo omulambo gwa Nsejje gwatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa. Bbo abasirikale Osubo ne Mubiru nabo baatwaliddwa mu ddwaliro okufuna obujjanjabi.

Patrick Nsenye ow'oluganda lw'omugenzi yagambye nti okukubibwa essasi yabadde agenze kubanja ssente ze nnusu lukumi alyoke adde ewaka.

Abatuuze baagambye nti okusinziira ku nneeyisa ya Agaba, yandiba nga yabadde atamidde kuba tewaabadde nsonga yamaanyi yamuviiriddeko kukuba masasi.

Kkansala Nassuuna Genza yategeezezza nti abasirikale bano ne mu katawuni k'e Kiyunga ku luguudo lwe lumu baakozeeyo effujjo wadde nga yo tebasseeyo muntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...